donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Obubaka bw’Omubaka wa Ssaabasajja mu UK & Ireland

Obubaka bw’Omubaka wa Ssaabasajja mu UK & Ireland
Image

Obubaka bw’Omubaka wa Ssaabasajja

Nina essanyu okubaaniriza mwenna abavudde okumpi n’ewala okuba nga muzze ku kijjulo kino eky’e byafaayo. Kansooke okwaniriza omumyuka wa Katikkiro wa Buganda Asooka, Owekitiibwa Prof Twaha Kaawaase n’okumwebaza okuba nga yakkiriza okutwegattako ku Kyeggulo kyaffe ekyo’mwaka guno. Nyaniriza abalangira n’abambejja, abakulembeze b’enzikiriza ez’enjawulo omuli; Abakristaayo, Abakulisitu, Abayisiraamu, Aba advent, Abapentekooti n’abatalina nzikiriza.

Nyongera okwaniriza abaami ba Ssaabassajja ku mitendera gyonna – Oweek. Ronald Lutaaya, Abamyuka, Abakungu, Abaami ku mabendobendo n’ab’emiruka, Ababaka b’Aba taka, abakiise okuva mu Kabaka Foundation, n’abakulem beze b’Ekisaakate kya Nnabagereka mu Bulaaya.

Nyaniriza ne sanyu lingi ddala abantu ba Ssaabasajja ne mikwano gya Buganda okuva munsi zonna n’amawanga ga Uganda amalala, abuvudde mu ssaza lino naabo abavudde ebweru wa Bungereza ne Ireland. Banaffe tubaniriza nnyo nnyini ddala! Mbebaza okutweggatako. Okubeerawo kwam we kwongera okukasa n’okunyweeza obumu bwaffe. Ekyeggulo kino kya byafaayo olw’ensonga ssatu: Esooka, ky’ekyeggulo kya Buganda mu Ssaza lyaffe lino ekisoose okutegekebwa ebweru w’ekibuga London, kino kituwadde omukisa okusisinkana abantu ba Ssaabasajja abawangaalira mu kitundu kino naye nga bakalubirirwa okugenda ku mikolo mu London. Eky’okubiri, kye kijjulo ekisoose okumala enna ku ssatu nambirira kasokanga Kyeggulo kitandika mu 2015. Enkola eno egaziyiziddwa etuwa omukisa si kujaguza kwok ka wabula n’okwenyigira mu mboozi ez’amakulu, okwonge ra okumanyigana, n’okunyweza enkolagana ezitugatta. Eky’okusatu, kino kye kijjulo ekisoose okubeera n’omu ku ba Ssabaminista nga omugenyi omukulu. Twesiimye nnyo oku ba nga ali naffe akawungeezi ka leero. Bwe tutunuulira omwaka oguwedde, tulina bingi byetwenyumirizaamu ebibaddewo wadde mubaddemu n’okusoomozebwa mu birala. Munzikirize nokoleyo ebimu ku byo:

Ttabamiruka eyasooka mu Bulaaya: Olukunggaana lwa Bu ganda Bumu European Convention (BBECO), lwatuula mu kibuga Edmonton ekiri mu Bendobendo lya North London ne Lower Midlands. Omukolo guno ogw’ebyafaayo gwaliko Katikkiro wa Buganda, Oweek Charles Peter Mayiga; ab’ebitiibwa baminisita abasoba mu musanvu n’abakungu abakulira ebitongole by’obwa Kabaka bangi. Olukungaana luno lwe lwasooka ku semazinga wa Bulaaya okugatta aban tu ba Ssababasajja okuva mu masaza gonsatatule agali ku semazinga wa Bulaya; omuli erya Bungereza, Scandanavia ne Rhinelands. Twenyumiriza okuba nga ffe twalya empaga okutekateka omukolo guno ogujja okubeerangawo buli luvanyuma lwa myaka ebiri.

Buganda Bereavement Fund (BBF): Mu Gatonnya (January) w’omwaka guno 2025, ekibiina kya Buganda Bereavement Fund (BBF) kyatandika emirimu gyaakyo, nga kati kirina bam memba abasoba mu 1,200. Wadde nga kya nakku nnyo nti bannaffe bana (4) baatugenzeeko mu kiseera kino, tusobodde okukungubaga n’abantu babwe mukiseera ekizi bu kye babadde bayitamu. Twebaza bannakibiina ba BBF nga bayita mu kibiina kino basobodde okutoola £9000.00 ezi weebwa buli family ya munnakibiina abeera atugenzeeko, okuyamba kunteekateeka z’okuwerekera bannakibiina bannaffe. Kino tukyenyumirizaamu nnyo okulaba nti abantu baffe naddala abo bannakibiina tebakyelalikirira singa omu ku bbo Mukama aba amuyise. Mu nkola eno, munnakibiina aba amanyi nti bwava mu bulamu bw’ensi eno, family ye tejja kubeera yokka mu kukungubaga ne mu byensimbi. Kale awo nkubiriza banaffe abatanegatta ku kibina kino bafube bakyegatteko. Buganda Bereavement Fund (BBF): Mu Gatonnya (January) w’omwaka guno 2025, ekibiina kya Buganda Bereavement Fund (BBF) kyatandika emirimu gyaakyo, nga kati kirina bam memba abasoba mu 1,200. Wadde nga kya nakku nnyo nti bannaffe bana (4) baatugenzeeko mu kiseera kino, tusobodde okukungubaga n’abantu babwe mukiseera ekizi bu kye babadde bayitamu. Twebaza bannakibiina ba BBF nga bayita mu kibiina kino basobodde okutoola £9000.00 ezi weebwa buli family ya munnakibiina abeera atugenzeeko, okuyamba kunteekateeka z’okuwerekera bannakibiina bannaffe. Kino tukyenyumirizaamu nnyo okulaba nti abantu baffe naddala abo bannakibiina tebakyelalikirira singa omu ku bbo Mukama aba amuyise. Mu nkola eno, munnakibiina aba amanyi nti bwava mu bulamu bw’ensi eno, family ye tejja kubeera yokka mu kukungubaga ne mu byensimbi. Kale awo nkubiriza banaffe abatanegatta ku kibina kino bafube bakyegatteko.

Abakyala: Ekitongole kyaffe eky’abakyala kyakuza olunaku lw’abakyala mu nsi yonna (International Women’s Day). Omukolo gwakuaanya abantu ba Ssaabasajja ne mikwano gyaabwe abaassukka mu 300. Omukolo guno gwaali mu Kkanisa ya St Jude ne St Aidan’s e Thornton Heath mu South London. Omukolo guno gwagatta abakyala n’abawala okuva mu mbeera ez’enjawulo, baayogera ku bibakwaatako, baasanyuka era obumu bweyongera n’okwenyumiriza mu buwangwa bwabwe.

Okutuuza abaami be Miruka: Ebbendobendo lya South ne West England (SWEB) lyatuuza abaami b’emiruka abasookera dddala mu Ssaza lyaffe era gwe mukolo og wasooka mu semazinga wa Bulaaya. Omukolo guno gwali Feltham mu Muluka gwa Kingston ne Richmond mu West London era gwaliko abantu abaasukka mu bikumi ebibiri mu atano. Nasanyuka nnyo okulaba nti waliwo abantu bangi mu ki tundu ekyo bulijjo abatatera kujja mu mikolo gya Buganda nga bajjumbidde omukolo guno era ne wano leero webali. Ab’emiruka tubaagaliza obuwereza obulungi. Nebaza omumyuka n’abaami beyakola nabo okuteekateeka omukolo ogwali omulungi ate omunyuvu ennyo.

Kabaka Birthday Run: Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gyateekebwatekebwa mu Crystal Palace Park mu bbendo bendo lya South ne West England. Emisinde gino gyaleeta abantu bangi nnyo abaasoba mu 500; omwali abantu ba Ssaabasajja ne mikwano gyaabwe okuva mu mawanga agen jawulo. Kino kyayongera okuggumiza obumu n’obwa se ruganda mu Ssaza lyaffe. Abavubuka bangi bajjumbira era ekyo kyakwenyumirizamu nnyo. Emisinde gyatwaala olunaku lulamba. Tusiima nyo ekibiina kya basawo (Uganda Nurses and Midwives Association) abaaleeta ensiisira y’ebyobulamu okukebera n’okuwa amagezi ku ndwadde ezitali zimu. Neebaza omumyuka eyakulembera olutabaalo luno, abaami b’ebbendobendo lya South ne West England, abakungu n’abaami okuva mu Ssaza lyonna abenyigira mu kuteekatee ka emisinde gino.

Kabaka Foundation: Twafuuna omukisa omulangira Junju Kiweewa bweyakiriza nabeera naffe nga omugenyi omukulu mu kutongoza ekibiina kya Kabaka Foundation (UK) n’olukii ko olukulembeze ku mukolo ogwali mu President’s Hotel mu kibuga London. Njozayooza Ssenkulu n’abaweereza abaasi imibwa Beene okukulembera n’okuwereza ku lukiiko olwo era tubaagaliza buwanguzi.

Ekisaakate kya Nnabagereka: Abakulembeze b’ekisaakaate baatekateeka omusomo gw’abaana n’abavubuka ogwali e Morden mu South London nga gwaliko abavubuka abasoba mu 60. Baatendekebwa mu bintu ebikulu mu bulamu, omuli obuwangwa, eby’ensimbi, n’ebyenfuna n’omusingi gw’amaka amalungi. Bino nga bijja kubayamba okufuuka abantu ab’obuvunaanyizibwa mu nsi. \

Food Bank: Ekitongole ky’embeera za bantu kyatandika okufuna n’okugabira abantu ba Ssaabasajja emmere n’ebikozesebwa nga kyatandikira mu masinziso; omuzigiti gw’e Pollards Hill, ekkanisa ya St Jude Church n’eklezia ya St Chad Church mu South London. Wadde omulimu guno gu limu okusomozebwa mu ngeri ezitali zimu, nebaza abakungu abagutaddemu obudde era nsubira nti gyebujja gujja ku tuuka mu mabbendobendo amalala gonna.

Okusomezeebwa: Omwaka gwajiramu okusomozeebwa. Twafiirwa abantu abaali abaweereza mu community zaabwe, okuli Mukungu Caroline Namugabi ne Ambrose Kibuuka n’a balala. BBF yafiirwa bannakibiina abajjuvu bana. Emyoyo gyabwe giwummule mirembe. Tukyalina okusoomoozebwa n’oluwalo. Essaza lyaffe teri naggumira ku nsonga eno, ate nga oluwalo lwelutambuza emirimu gya Bbeene. Nsaba buli omu akitwaale ng’obuvunanyizibwa bwe okuwaayo oluwalo buli mwaka.okulaba nga emirimu emirungi Ssaabasajja gyakola gigenda mu maaso nga omwo mwemuli okuyamba abantu abali mu bwetaavu. Newankubadde nga twolekagana n’ebizibu bino, obumalirivu bwaffe bujja kutuyamba okubivvunuka era tujjudde essuubi olw’ebijja mu maaso.

Mu mwaka ogujja, tuteekateeka okutegeka okukuza olunaku lw’abakyala mu nsi yonna ogusubirwa okwaniriza abantu okuva mu bifo bingi ebyenjawulo; okutegeka emisinde egy’amazaalibwa ga Kabaka nga ku luno tujja kuba mu East London. Tusuubira okunnyikkiza ensonga ya Twezimbe (okukolera awamu okw’ekulakunya) n’okutandika ku nkola ya “Diaspora Gives Back” (abakugu abali kuno okukozesa obukugu bwaabe okuyamba abali eka) esubiirwa okutandika gye bujja. Nina esuubi nti bwetuba nga tukwatidde wamu tujja kusobola okwongera ku luwalo lwetuwereza embuga.

Njagala okwebaza omukungu n’Abaami b’ebbendobendo lya Midlands ne Manchester, wamu n’abakungu n’abaami okuva mu mabbendobendo gonna abateeseteese omukolo guno ogw’ekitiibwa. Banaffe mwebale nnyo. Nebaza abavujirizi baffe abatatulekera buli lwetuba n’emikolo. Abantu ba Ssaa basajja ne mikwano gyammwe n’abagenyi mwenna abavudde ebuule n’ebweya mwebale kutweggattako leero.

Nga tufumiitiriza ku bituukiddwaako n’okusoomoozebwa kwetufunye, nina esuubi nti nga tuyita mu mulamwa gwaffe ogwobumu n’okwekulakulanya, tujja kuvvunuka ebitusoo moza tutuuke ku buwanguzi mu byetukola. Tufube okusitula abavubuka baffe, nga tubaagazisa ensi ne nnono yaabwe tusobole okunyweza o’Buganda eyenkya mu Ssaza lyaffe.

Awangaale Ayi Ssaabasajja

Geoffrey Kibuuka

Omubaka wa Ssaabasajja mu UK ne Ireland.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK