
Obubaka bw’Omubaka wa Kabaka mu UK ne IRELAND
Okutuuza olukiiko lwa Kabaka Foundation
Tulina essanyu okuba nga twaniriza Omulangira Crispian Jjunju Kiweewa, Omukungu Kaggwa Ndagala - Senkulu wa Kabaka Foundation, Abakungu, Abaami, n’abagenyi baffe mwenna abazze okuba abajulizi nga abayima (trustees) ba Kabaka Foundation mu UK batuuzibwa mu buvunayizibwa bwaabwe obw’okutwala emirimu gya Kabaka Foundation mu maaso.
Twenyumiriza okuba nga lino lye limu ku ma Ssaza Ssaabasajja Kabaka mweyasokera okutongoza Kabaka Foundation. Kale tulina essanyu linga okuba nga ate Omulangira Jjunju akirizza najja okutongoza abayima bano abapya.
Twesiimye nnyo okuba nga Ssaabasajja Kabaka yagunjawo Kabaka Foundation mwayita okuyamba abantu naddala abaana abayita mu kusoomozebwa mu ngeri ezitali zimu awatali kusosola mu mawanga, nzikiriza oba langi.
Ssaabasajja nga ayita mu Kabaka Foundation n’abawereza be ayambye abantu abayita mu kugezesebwa okutali kumu. Ng’ayita mu kibiina ekya Kabaka Foundation, Ssaabasajja ayambye; abantu abasula mu migattiko, abaana abatalina baasirizi, abantu abalina endwadde enzibu okujanjaba, okusomesa abaana abenkula zoonna, okusimba emiti okuyamba obutonde bwensi n’ebintu ebirala bingi.
Ebintu bino tebiyambye Baganda bokka naye n’abantu abalala abawangalira mu Buganda n’ebifo ebirala ggwanga lyona.
Mukkowe eryo, tulina esuubi nti abayima abagenda okutuuzibwa olwaleero bajja kuba nga bassa ebigenderwa bya Kabaka Foundation mu nkola n’okwongera mu maaso omulimu omulungi ogukoleddwa era tubalinamu esuubi ddene.
Abayima tubayozayoza okuba nga mwalengerwa ne mulondebwa okuba abasaale mu Foundation, tubasabira era tubaagaliza obuwereza obulungi obujudde ebibala era tubaagaliza buwanguzi mu buwereza bwammwe.
AWANGAALE MAASO MOOGI
Ssaalongo Geoffrey Kibuuka
Omubaka wa Ssaabasajja mu UK & Ireland