
Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, ng’atongozza amasomero ga Nassale ga Obwakabaka
MUKONO, Uganda —
Obwakabaka bwa Buganda butongozza amasomero ga Nassale amakumi g’emu (11), wamu n’enkiiko ezigenda okugaddukanya, mu kaweefube w’okunyweza eby’enjigiriza by’abaana abato n’okuzimba omusingi ogugumu ogw’obulamu bwabwe mu biseera eby’omu maaso.
Omukolo guno gukoleddwa omumyuka asooka owa Katikkiro era Minisita w’Obuyiiya n’Enzirukanya y’Emirimu, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, ng’akiikiridde Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, ku mbuga ya Ssaza Kyaggwe e Mukono.
Mu kwogera kwe, Owek. Prof. Twaha Kaawaase ategeezezza nti omwana omuto ye musingi gw’eggwanga, era asaanidde okukwatibwako okuva mu buto bwe okwewala ebizibu ebiyinza okumutuukako mu biseera eby’omu maaso.
Yagambye nti kino ky’ensonga enkulu lwaki Ssaabasajja Kabaka yassa essira ku byenjigiriza by’abaana abato, n’aggulawo amasomero ga Nassale agagenda okuyamba okuzimba omwana omuteeketeeke mu bwongo, mu mpisa ne mu buwangwa.
“Omwana omuto ye musingi gw’eggwanga, era okutandika okumukwatako nga muto kye kisinga okuba ekikulu.”
Owek. Twaha Kaawaase yasabye olukiiko olulondeddwa okuddukanya amasomero gano okukozesa obwerufu n’obwesigwa mu ntambuza y’emirimu, ng’abajjukiza nti be maaso ga Buganda era basaanidde okuluubirira enkulaakulana y’amasomero gano ku mutendera ogwa waggulu.
Okunyweza eby’enjigiriza n’obuwangwa

Abaana mu masomero ga Nassale nga booleka obulungi obw’ebitone byabwe eby’enjawulo mu by’ensimbi, eby’emizannyo n’obuwangwa.
Minisita w’Ebyenjigiriza n’Enkulaakulana y’Abantu, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okusiima n’awa abantu be amasomero ga Nassale.
Yagambye nti enteekateeka eno egenda kugonjoola ebbula ly’amasomero agafaayo okusiga mu baana abato omusingi gw’okwagala obuwangwa bwabwe n’okutumbula olulimi lwabwe okuva mu buto.
Ku ludda lwe, Omwami w’Essaza Kyaggwe Ssekiboobo, Owek. Vincent Matovu, asabye abazadde okuleeta abaana baabwe mu Ssekiboobo Daycare & Nursery School, balabirirwe era bafune okubangulwa okutuufu okuva mu bakugu mu byenjigiriza abeesigamiziddwa ku musingi n’ennono z’Obwakabaka bwa Buganda.