
Omubaka ng'asimbula emisinde
Ku Sunday nga 7/4/2024 abantu ba Ssaabasajja abawaangalira mu ssaza lya UK ne Ireland beetabye mu misinde gy’amazalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’emyaka 69 wansi w'omulamwa gwo kulwanyisa obulwadde bwa mukenenya.
Emisinde gyadadde Tottenham mu North London era gyetabiddwama abantu bangi; abakulu n’abato abaavudde mu bifo ebyenjawulo mu ssaza lino.
Omubaka wa Ssaabasajja mu UK ne Ireland Oweek. Ssaalong Geoffrey Kibuuka yakubirizza abantu ekwetaba mu lutalo Ssaabasajja lweyalangirira olw’okulwanyisa endwadde ya mukenenya nga tebakoma ku kugula mijozi kyokka naye n’okulambika abavubuka okwewala ebikolwa ebiyinza okuvaako okufuna obulwadde buno.

Abadusi nga bamaze okusimbulwa Oweek Godfrey Kibuuka era nga batandise okudduka
Omubaka yebaziza nnyo bonna abetabye mu misinde gino naddala abavubuka n’abato. Yebaziza abaami ba Ssaabasajja ab’ebbendobendo lya North London and Counties ababadde abasaale mu kutegeka e misinde gino.
Emisinde gyasimbuddwa omubaka ku saawa nnya zenyini.
Mu baabaddewo mwemubadde ne Oweek. Ronald Lutaaya - Omubaka wa Kabaka eyawummula, abamyuka abatwala amabbendebendo, abakungu, abaami n’ababaka babataka.