
Maama Rhoda Kalema alese omukululo mu by'obukulembeze, ebyobufuzi, eby'enjigiriza n'embeera z'abakyala, ebimanyiddwa obulungi mu Uganda ne mu nsi yonna. Tujja kusigala nga tumwenyumirizaamu nnyo mu kulwanirira obwetwaze bw'omukyala mu Uganda.
Tabadde na busosoze mu bantu, wadde obuli bw'enguzi; kino kibeere kyakulabirako eri abantu baffe.
Tusigale nga tumuyigirako, n'okwegomba obuweereza bwe obutabaddeko bbala, nga bwe tulaba ensangi zino mu bantu abamu abaweebwa obuvunanyizibwa.
Tusaba Mukama abagumye mu buyinike, era Omugenzi amuwe ekiwummulo eky'emirembe.
