Okwetegereza omulimu gw'okugaddaabiriza we gutuuse.
Alambudde ennyumba Muzibwazaalampanga, ebyuma ebizikiriza omuliro n'enkozesa yaabyo, ttanka z'amazzi, n'ennyumba Bujjabukula.
Katikkiro w'amasiro g'e Kasubi, y'abaddewo n'alambuza Beene ebifo bino, ng'ayambibwako Abagiriinya.
Ssaabasajja asiimye Abagiriinya olw'omulimu gwe bakoze oguweesa Obwakabaka ekitiibwa. Yebaziza ne Gavumenti ya Japan olw'okuwayo ebyuma ebizikiriza omuliro eby'omulembe.

Kabaka nga afuluma mu masiro
