donate

Choose Language

Select your language

donate

Queen’s Ball 2025 eyategekeddwa Nnaabagereka egenda mu maaso ku nsonga z’obulamu bw’obwongo

Queen’s Ball 2025 eyategekeddwa Nnaabagereka egenda mu maaso ku nsonga z’obulamu bw’obwongo
📸 Nnaabagereka Sylvia Nagginda yayambadde bulungi ku mukolo gwa #QueensBall2025 ogwabadde ku Speke Convention Center e Munyonyo

📸 Nnaabagereka Sylvia Nagginda yayambadde bulungi ku mukolo gwa #QueensBall2025 ogwabadde ku Speke Convention Center e Munyonyo

📍 Speke Convention Center, Munyonyo – May 2, 2025

Ekyeggulo kya Nnaabagereka 2025, ekimanyiddwa nga #QueensBall2025, kikyagenda mu maaso ku Speke Convention Center e Munyonyo. Kyetabiddwako Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Katikkiro Charles Peter Mayiga, abaminisita, abakulembeze, n’abakungu abalala ab’enjawulo okuva mu bitundu ebyenjawulo.

Mu bubaka bwe, Nnaabagereka yasinzidde ku nsonga y’obulamu bw’obwongo, n’agamba nti:

“Abantu baffe bangi balina obuzibu ku bwongo naye batya okwekwatula n’okubuulira ekizibu. Kyokka bwe tukwatagana, tusobola okubawa essuubi n’okumalawo ensonyi n’okuwulira nti babeera bokka.”

📸 Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’alamusa Sudhir Ruparelia ku mukolo gwa #QueensBall2025 e Munyonyo

📸 Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’alamusa Sudhir Ruparelia ku mukolo gwa #QueensBall2025 e Munyonyo

Katikkiro Charles Peter Mayiga, naye yasabye abantu okulowooza ku ngeri gye tuyinza okunyweza obulamu bw’emmeeme, n’agamba nti:

“Obulwadde bw’obwongo oluusi buva ku mbeera ez’amaanyi omuntu z’ayitamu nga okufiirwa emirimu, obwavu, okuba yekka, n’abalala abalina obuvumu bubi.”

Yannyonnyola nti waliwo obwetaavu okubudaabuda abantu mu bwongo okusobola okwewala ebikolwa eby’obutabanguko n’eby’ettima ng’obutemu, obubbi n’obulyake.

Yasiimye Maama Nnaabagereka n’abo bonna abamukwatiddeko mu kulaba nga Uganda efuna enkola ennungi ey’okubudaabuda abantu abalina obuzibu ku bwongo.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK