
Omutaka Kitand nga ayogerako n’abantu ba kabaka
Omukulu w'Ekika ky'Enjaza, Omutaka Kitanda Samuel Bakisuula Kiwanuka, akubirizza abantu ba Buganda okukomya omuze gw'okwetundako ettaka. Alina okwolesebwa nti singa ettaka balikolerako polojekiti ez’enjawulo, basobolera ddala okulikuuma obutatwalibwa basatuusi.
Okwogera bino, Omutaka Kitanda asinzidde mu Lubiri e Mmengo ku mukolo gw'okutikkula amakula ga Kabaka agaleeteddwa Ggombolola Mutuba III Nnyimbwa mu Bulemeezi, n'ategeeza nti ettaka eritaliiko kintu kyonna lyanguyirwa okutwalibwa bannakigwanyizi nga bakozesa obukujjukujju obw'enjawulo okulisuuza bannyini lyo. Wano w'asabidde bazzukulu ba Buganda okubaako byebakolera ku ttaka beewale ebizibu ebiringa ebyo.
Omwami w’egombolola Mutuba III Nnyimbwa, Kalyesuubula Enosi, akulembedemu bannabulemeezi mu kuleeta amakula, aweze okwongera okuweereza Beene era n'asaba Abaganda okwongera obujjumbize mu nteekateka zonna.
Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, Omuk. Moses Luutu, asabye abazadde okukuuma obulungi abaana baabwe, naddala mu kiseera ky'ebyokulonda kyetwolekedde.