
Owek. Katikkiro ng’awandiika ku bbaani y’omusomo mu mukolo gw’okutongoza
Gwakutambulira ku mulamwa: "Amaka y’Emmerezo y’Obuntu."
Bw’abadde atongoza gw’omwaka guno, Katikkiro Charles Peter Mayiga alaze obwenyamivu olw’abantu okuggwamu obuntu nga beenyigira mu bikolwa ebikosa abalala, ebyesitazza era ebitayamba Ggwanga.
Bwatyo yeebazizza Abataka Abakulu Ab’Obusolya olw’omulamwa gw’agambye nti mukulu ddala.
Katikkiro akunze Obuganda okwetaba mu musomo ogunabaawo mu mwezi ogw’ekkumi nga 24, era akikaatiriza nti omuntu ayitibwa omumanyi y’oyo afaayo okwongera okuyiga.
Bwatyo asabye abantu okufaayo okujjukizibwa eby’omuwendo ebyo ebyabazaalirwamu nga bwe buwangwa n’ennono.

Owek. Katikkiro ne Abataka Abakulu be Bika mu kifaananyi ekyawamu oluvannyuma lw’okutongoza omusomo
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba, ategeezezza nti nga basinziira ku mulamwa guno, baagala okujjukiza abazzukulu obukulu bw’amaka mu Buganda, era okulaga obukulu bw’amaka mu kuzimba obuntu n’okunyweza Eggwanga.