donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Omulangira omubuze Daudi Ssimbwa Kazibwe Golooba aterekeddwa e Kasubi

Omulangira omubuze Daudi Ssimbwa Kazibwe Golooba aterekeddwa e Kasubi
Omulangira Daudi Ssimbwa Kazibwe Golooba nga atwalibwa okuterwa

Omulangira Daudi Ssimbwa Kazibwe Golooba nga atwalibwa okuterwa

Omulangira Daudi Ssimbwa Kazibwe Golooba aterekeddwa emisana ga leero e Kasubi. Omulangira Golooba yazalibwa Ssaabasajja Ssekabaka Edward Muteesa II ne Omuzaana Magdalena Buwoomyaki ku lunaku lwa 14/04/1953.

Yava mu bulamu bw’ensi nga 23/02/2025.

Omulangira Nakibinge Nadeem ye musika wa Omulangira Daudi Golooba, era muzukkulu w'Omubuze. Omutaka Kasujju Lubinga Migadde Ssajjakambwe y’amwanjudde eri abantu.

Oluvannyuma lw'okumwanjula, omusika yasabiddwa edduwa era n’asabibwa okukulembera banne obulungi.

Omulangira mu ddiini y’Obusiraamu

Jjajja w’Obusiraamu mu ggwanga, Omulangira Dr. Kassim Nakibinge, agambye nti Omulangira Daudi Golooba abadde muntu omwesimbu, ow’empisa, era ayagala eggwanga lye.

Omulangira Nakibinge yabuulidde obubaka buno ku muzikiti e Kibuli mu Kampala ku Lwokubiri, mu musomo ogwabaddewo nga basaalira Omulangira Golooba eyaseeredde ku Ssande. Sheikh Muhammad Galabuzi ye yakuliddemu omukolo.

Omutaka Kasujju ng’amwanjula Omulangira Nakibinge Nadeem nga musika wa Omulangira Daudi Golooba eri abantu

Omutaka Kasujju ng’amwanjula Omulangira Nakibinge Nadeem nga musika wa Omulangira Daudi Golooba eri abantu

Omulangira Nakibinge annyonnyodde nti obulamu bwa Golooba bwatandika okukyuka oluvannyuma lw’okubula kwa muganda we, Nasser, gwe yali ayagala ennyo. Wano, Nakibinge yasabye abantu okukola ennyo nga bakyali ku nsi n’okuleka Omukululo omulungi.

Obubaka bwa Katikkiro ku mulwadde

Katikkiro Charles Peter Mayiga yeeyanyizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi olw’okujjanjaba Omulangira Daudi Golooba mu kiseera we yali mulwadde.

Mukuumaddamula agambye nti Omulangira Golooba abadde musajja ayagala ennyo eby’enkulakulana, era yamwebaza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi n’olulyo olulangira okutwaliza awamu olw’okumuwereza nga yali mu bulwadde.

Ebigambo by’ennyumba ya Ssekabaka Muteesa II

Nnaalinnya Dorothy Nassolo, ku lw’ennyumba ya Ssekabaka Muteesa II, agambye nti Omulangira Golooba abadde wa bantu, afaayo era atalekerera balala.

Nnaalinnya Dorothy Nassolo ng’awa obubaka ku lw’ennyumba ya Ssekabaka Muteesa II

Nnaalinnya Dorothy Nassolo ng’awa obubaka ku lw’ennyumba ya Ssekabaka Muteesa II

Ategeezezza nti muganda waabwe abadde amanyi ekitiibwa ky’Obulangira, era nga yefaako nnyo mu ngeri gye yawambaliramu obulungi, kyokka ng’awa n’abalala ekitiibwa ekimugwanira.

Yeebazizza bonna abamujjanjabye okutuusa Mukama wamutwalidde, n’abayimiridde n’enju ya Ssekabaka Muteesa II mu kiseera kino eky’okusoomoozebwa. Asabidde muganda we ono okuwummula mirembe.

Katikkiro ku lw’Obwakabaka

Katikkiro Charles Peter Mayiga ayogedde ku Mulangira Golooba ng’omuntu abadde awagira ennyo Nnamulondo okunywera era nga yeetaba mu mikolo gy'Obwakabaka mingi naddala egiriko Kabaka.

Katikkiro ng’awa obubaka ku lw’Obwakabaka

Katikkiro ng’awa obubaka ku lw’Obwakabaka

Agambye nti Omulangira Golooba abadde muwabuzi omukulu, era nga amanyi bingi, kubanga yalabako ne ku Kitaawe, Ssekabaka Edward Muteesa II, okumala akaseera.

Katikkiro agasseeko nti Omulangira Golooba alese eddibu eddene era ajja kusaalirwa nnyo olw’ebyo by’abadde akola.

Yeebazizza bonna abamujjanjabye, n’abateesiteesi abakoze ku nteekateeka y’okumuwerekera mu kitiibwa nga Mulangira era nga Musiraamu.

Gutusinze nnyo, Ayi Kabaka, twakuumye bubi.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK