donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Okwebaza Katonda olw’obulamu bwa Ssaabalabirizi w'Ekkanisa y'Abadiventi, Pr. Dr. Moses Maka

Okwebaza Katonda olw’obulamu bwa Ssaabalabirizi w'Ekkanisa y'Abadiventi, Pr. Dr. Moses Maka
Owek. Noah Kiyimba (Kudyo)  ng’addiriddwa Omulabirizi Maka nga basala keke.

Owek. Noah Kiyimba (Kudyo) ng’addiriddwa Omulabirizi Maka nga basala keke.

Wabaddewo Okwebaza Katonda era n’okumusiibula Ssaabalabirizi w’Ekkanisa y’Abadiventi, Pr. Dr. Moses Maka Ndimukika, okugenda mu buweereza ebweru w’eggwanga.

Minisita w’Olukiiko, Kabineeti, Abagenyi n’Ensonga ez’Enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba, y’akiikiridde Obwakabaka ku mukolo guno.

Ssaabalabirizi Maka asimuusiddwa okubeera Ssaabawandiisi w’ettwale erigatta amawanga 13 mu maserekati n’obuvanjuba bwa Afrika (ECD) mu Kkanisa y’Abadiventi.

Minisita Kiyimba asomye obubaka bwa Katikkiro, Charles Peter Mayiga, obwebazizza Ssaabalabirizi Maka olw’okugatta Obwakabaka n’Ekkanisa y’Abadiventi.

“Kinajjukirwa nti watukulembera bulungi mu kukuza amazaalibwa ga Kabaka agaakuzibwa ku Kkanisa y’Abadiventi e Najjanankumbi, era twawoomerwa nnyo enjiri yo,” bwe yagambye Katikkiro mu bubaka bwe.

Katikkiro yamuweerezza obutabaala bwa Katonda mu buweereza obuggya, era n’amusaba ayongere okusakira Ekkanisa nga bw’abadde akola ebbanga lyonna.

Mu bubaka bwe, Ssaabalabirizi Maka yebazizza nnyo abo abamubeereddewo mu bulabirizi bwe, era n’abasaba obuteeralikirira kubanga Katonda agenda kubawa omulabirizi omulala ayinza n’okusingawo ku buweereza bwe.

Bannaddiini ab’enjawulo bagambye nti Ssaabalabirizi Maka atadde obusumba bw’Ekkanisa ku ddaala ly’ensi yonna, ng’ayita mu bukulembeze bwe obw’amaanyi, okusembeza abakadde mu Kkanisa, awamu n’okubawa obusumba. Bamusabidde Katonda amugondezeemu ekkubo ly’akutte.

Omukolo gwetabiddwako Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, Omuk. Moses Luutu, Minisita w’Ensonga z’Obwapulezidenti mu Gavumenti ya Wakati, Hon. Babirye Milly Babalanda, bannaddiini ab’enjawulo n’abantu abalala bangi nnyo.

Obulabirizi buno buggya kufuna Ssaabalabirizi omuggya mu butongole nga 26 omwezi guno.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK