
Olunaku lw’Abakozi lutuwa omukisa okwefumiitiriza ku mugaso gw’emirimu mu mirembe gyaffe, era n’okutegeera ekifo ekikulu kye girina mu nteekateeka y’obulamu bw’abantu baffe.
Eri Abakozi:
Lowooza nnyo ku mulimu gw'olina n’engeri gy’ogattamu omugaso mu byokola.
Eri Abakozesa n’Abo abali mu bifo eby’Obuvunaanyizibwa:
Lowooza ku mbeera abakozi mwe bakolera, n’engeri gye bayisibwamu — nga bino bikolebwa mu bwesimbu, obwenkanya, ekitiibwa n’obutegeeragana.
Obuganda buyita abantu bonna okwekumira mu nsi y’okukola n’omwoyo gw’obumu, obuvunaanyizibwa n’okwewaayo.
Tukwagaliza olunaku lw’Abakozi olujjudde essanyu era olw’amakulu.