donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Okujjukira Owek. Kaaya Kavuma: Okusaba ne Okwebaza

Okujjukira Owek. Kaaya Kavuma: Okusaba ne Okwebaza
Owek. Robert Waggwa Nsibirwa (wakati) nga ali nabakulisitayo.

Owek. Robert Waggwa Nsibirwa (wakati) nga ali nabakulisitayo.

Okujjukira Owek. Kaaya Kavuma mu Ssagala

Abakristo mu kkanisa ya St. Philip e Ssagala, mu Busumba bw’e Jjungo, bategese okusaba kw’okwebaza Katonda olw’emirimu gye yakozesa Owek. Kaaya Kavuma, Omugenzi. Mu mirimu gino mulimu n’okuzimba ekkanisa eno y’ennyini.

Obwakabaka bwakiikiriddwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa. Mu bubaka bwe, ayogedde ku Mugenzi Kavuma ng’omuntu eyalina okwolesebwa mu bintu bingi—okutandikawo ekkanisa, okutumbula obulimi n’obusuubuzi bw’emmwanyi mu Busiro. Yaliwo n’Omumyuka wa Katikkiro.

Owek. Nsibirwa agambye nti Kavuma yaweereza nnyo ekkanisa, Eggwanga lya Kabaka n’Obwakabaka. Era yali musaale mu biseera by’okuzzaawo Obwakabaka.

“Owek. Kavuma yayagala nnyo okugatta oluganda. Yaweereza nnyo Ekika kye eky’e Nvuma, nange mwenva. Yasembezanga abantu bonna era yannunyamanga nnyo, naddala mu biseera nga ntandise obuweereza mu Bwakabaka,” bwe yagambye Nsibirwa.

Owek. Waggwa agasseeko nti ono yali musajja mukkakkamu nnyo, nga teyegulumiza, era yakwata ku bulamu bw’abantu bangi ng’awa ekyokulabirako ekirungi. Asabye abakulembeze ku mitendera gyonna nabo okuba ekyokulabirako mu bikolwa byabwe, si ku bigambo byokka.

Mu bubaka bwe bumu, Owek. Nsibirwa akubirizza mu biseera by’okulonda. Avumiridde abantu abavvoola abalala olw’okuba baawukana mu ndowooza, era asabye abalonzi okulonda abantu abategeera Kabaka n’ensonga za Buganda—naddala ezikwata ku kukyusa embeera z’abantu. Abakubirizza obutakkiriza kubaggya ku mulamwa, wabula bakuume obwa sseruganda mu mbeera zonna.

Eno ye kkanisa omugenzi mweyasabiranga.

Eno ye kkanisa omugenzi mweyasabiranga.

Ebigambo bya Hon. Ssegona n’Omusumba Kafeero ku kujjukira Owek. Kaaya Kavuma

Hon. Medard Lubega Ssegona, Omubaka wa Busiro East, eyetabye mu kusaba kuno, agambye nti Owek. Kavuma yaleka omukululo omunene—omuli n’okutandikawo Busiro Coffee Exporters, ekyayamba nnyo mu kukyusa obulamu bw’abalimi. Agasseeko nti ono yateekateeka bulungi abaana be. Bw’atyo akubirizza abazadde okuterekera abaana obulungi, baleme kussa mu mbeera etandise okulabika mu bavubuka abasaalanyize empisa ennaku zino.

Ssegona agambye nti abalonzi tebalina kulonda bantu babayambe bokka, wabula balonde abanakolera obuweereza ku byetaago by’ebitundu byabwe.

Rev. Andrew Kafeero, Omusumba w’Obusumba bw’e Jjungo, naye akubirizza abantu ba Katonda okuyisa obulungi bannaabwe, nga Owek. Kavuma bwe yali. Avumiridde ebikolwa ebikyamu ebirabise ennyo mu bantu ensangi zino, naddala mu bakyala. Yasindise obugayaavu, okuyomba, okubaliga, obujama, okwelaguza, n’olugambo, ng’abasabye okweturna eri Yesu abakyuse, nga bwe yakyusa Maria Magdalene.

Okusaba kuno kubaddemu ensonga ssatu:

  • Okwebaza olw’obulamu bwa Owek. Kavuma.
  • Okubatiza abaana.
  • Okukuza olunaku lw’abakyala mu kkanisa eno.

Era wabaddewo n’okusonda ensimbi okwongera okumaliriza ekkanisa.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK