donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Okuddaabiriza Ennyanja ya Kabaka

Okuddaabiriza Ennyanja ya Kabaka
Ennyanja ya Kabaka nga bweefaanana mu kiseera kino

Ennyanja ya Kabaka nga bweefaanana mu kiseera kino

Olukiiko olukola ku nteekateeka y’okuddaabiriza Ennyanja ya Kabaka lutudde mu Bulange e Mengo okuteesa ku nkola n’empenda ez’okukozesebwa okulaba nti emirimu gy’okuddaabiriza ennyanja eno ginnyikizibwa okugizaawo mu kitiibwa kyayo.

Mu lukiiko olwetabiddwamu Minisita w’Obulambuzi, Obuwangwa n’Ennono, Owek. Anthony Wamala, yatuuziddwa n’Abolukiiko olwalondebwa okutambuza emirimu gy’okulongoosa ennyanja eno, mu nsisinkano eyetabiddwamu ne Omusumba Robert Kayanja owa Miracle Center mu Ndeeba.

Owek. Wamala agamba nti:

“Ennyanja ya Kabaka kya bulambuzi ate kya busika bwaffe, ekiri ku mitima gya bantu bangi. Pulaani zaakolebwa, ettaka ly’ennyanja lyonna lya puntibwa. Newankubadde waliwo abantu bangi abalyesenzezaako, enteekateeka ez’okutaasa ennyanja eno weeziri okulaba nti eddawo mu kitiibwa kyayo.”

Yannyonnyodde nti abantu bangi balowooza nti tewali kikoleddwa kutaasa bintu bya Bwakabaka, annyonnyodde nti Obwakabaka bwa Buganda n’emikwano gyabwo bamanyi bulungi ekigenda mu maaso ku Nnyanja ya Kabaka.

Owek. Anthony Wamala ng’ayogerako eri bannamawulire ku nteekateeka eno

Owek. Anthony Wamala ng’ayogerako eri bannamawulire ku nteekateeka eno

Owek. Wamala ategeezeza nti newankubadde enteekateeka zitutte ebbanga, naye waliwo ekikolebwa. Yebazizza Omusumba Kayanja naye eyavuddeyo okutambula n’Obwakabaka mu nsonga eno.

Mu bubaka bwe, Omusumba Robert Kayanja yasiimye nnyo enteekateeka eno, n’agamba nti:

“Ennyanja eno y’egenda okutaasa Kampala, kubanga twalabye ekizimbe nga kikutte omuliro, naye amazzi gava wala mu Nnyanja Nnalubaale, Ennyanja ya Kabaka y’erina amazzi okututaasa singa omuliro gukwata mu kibuga kyaffe.”

Era yebazizza nnyo Obwakabaka olw’enteekateeka gye bulina mu kuzzaawo Ennyanja ya Kabaka. Ategeezezza nti okusinziira ku Pulaani gy’alabyeko mu lukiiko lwe yetabyemu, emwongedde amaanyi nti omulimu guno gujja kuweesa Obwakabaka ne Uganda yonna ekitiibwa, era yeyamye okutambulira awamu n’Olukiiko olukola ku nsonga eno okulaba nti ekigendererwa ekikulu kituukibwako.

Ssentebe w’Olukiiko, Omuk. John Fred Kiyimba Freeman, ategeezezza nti olukiiko lwafulumya dda Pulaani eyayisibwa Kabineeti ya Kabaka be Beene kennyini.

Agamba nti ekifo ennyanja kwetudde kiri ku yiika 67, kyokka kuliko abeesenzaako, wabula bano baalabulwa dda, era abajjukiza okusegulira ettaka lino kubanga enteekateeka z’okuddaabiriza ekifo kino zigenda kutukizibwa mu bwangu ddala.

Ono ategeezezza nti Olukiiko lusazeewo ebintu bina eby’omugaso:

  1. Okutambulira ku Pulaani eriwo
  2. Okukolagana ne KCCA ne Minisitule y’Ebyettaka okulaba nti oluguudo olulinanye ennyanja lukolebwa
  3. Okukwatagana n’Omusumba Kayanja ku nteekateeka ez’okusengejja amazzi – omuli ekinya ekyasimiddwa okusengejja amazzi n’ebitoogo ebikwata obukyafu
  4. Okuteekako bbugwe ku ttaka lyonna lya puntibwa okulaba nti likumibwa bulungi

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK