
Katikkiro nga ali ne Bannamikago mu kifananyi ekyawamu
Obwakabaka bwa Buganda bwanjudde entebya y’ebyava mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 70, obuwumbi bubiri n’obukadde lwenda 2,900,000,000) bwe bwakuŋŋanyuzibwa mu baddusi abaasoba mu mitwalo 12, n’endala ezaava mu Bannamikago.
Okwanjula entebya eno n’ebibalo ku kaweefube w’okulwanyisa mukenenya watuuse bukya Kabaka asiima mu 2020 emisinde gy’Amazaalibwa ge gitunuulire okulwanyisa mukenenya, kubadde mu Bulanga e Mmengo, Obwakabaka webusisisinkanidde bannamikago baabwo abawagira enteekateeka z’emisinde gino.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezeza nti okuva Kabaka lwe yasiima enjiri y’okulwanyisa mukenenya esaasanyizibwe mu Buganda, obulwadde bukendde, kyokka alabudde nti newankubadde biri bityo, abantu basaana okwongera okwekuuma, okwekebeza n’okumira eddagala eri abo abalina akawuka.
“Waliwo okugenda mu maaso era obudduukirize bwammwe n’enkolagana gye tulina nammwe bikoze kinene nnyo, abantu abaali batya okugenda okubakebeza kati bavaayo ne babakebera, naye kirungi abantu bawulidde omulanga gwaffe ne bajjumbira okwekebeza n’okwekuuma” Katikkiro Mayiga.
Owoomumbuga akubirizza abavubuka naddala abawala obutakkiriza kulimbibwalimbibwa n’obusentesente kubanga kisobola okubasuula mu kabaate. Yebazizza Bannamukago abakwataganye n’Obwakabaka mu kaweefube ono era ategeezeza nti Buganda tejja kussa mukono okutuusa nga mukenenya aweddewo mu Buganda ne Uganda okutwaliza awamu ate ng’obwanga butunuuliziddwa mwaka
gwa 2030.

Okusaanyizibwa kwa mukenenya mu Buganda kukendedde wakati wa 2020 ne 2024
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa yayanjudde entebya n’ebibalo eby’enjawulo ku ngeri mukenenya gy’alwanyisiddwamu mu Buganda, annyonnyodde nti ensimbi zaateekebwa mu kukuba ebipande ebiriko obubaka obujjukiza abantu ku kulwanyisa mukenenya okwetooloola amasaza gonna mu Buganda, okukebeza n’okusomesa abantu, okutegeka omukolo gw’amazaalibwa ga Kabaka, okukyusa obubaka ku mikutu gy’ebyempuliziganya egy’enjawulo n’ebirala.
Obukadde obuli mu 800 bwakozesebwa mu kumanyisa abantu ba Kabaka ku bulabe bw’obutaba na buvunanyizibwa, okumanyisa abantu ku kabi akali ku kawuka ka mukenenya wamu n’okumanyisa abantu ba Kabaka ebifo akawuka kano mwe kajjanjabirwa saako n’okutegeka ebyoto ku mbuga z’eggombolola n’enteekateeka endala.
Obukadde 21 zaasaasanyizibwa mu kusomesa abakulembeze ab’ennono ku kawuka kano wamu n’abavubuka n’abasawo ate nga Obukadde 29 n’emitwalo 57 ne zikozesebwa mu kugula ebikebera akawuka kano.
Obukadde 53 n’emitwalo 70 zaasaasanyizibwa mu kulondoola ensimbi n’okulaba nga zikola bye zirina okukola ng’ate obukadde 72 mu emitwalo 23 ne zikozesebwa abantu ba Kabaka abali batuusa ebyetaago mu bitundu bya Buganda ebitali bimu.
Okutunda emijoozi ,okulanga abantu gye bannaddukira nga kwotadde n’ebyokwerinda byamalawo obukadde obusoba mu 200 nga bino byonna byakolebwa wakati w’enkolagana y’Obwakabaka bwa Buganda wamu n’ekitongole kya UNAIDS ne bannamikago abalala.
Jonathan Mubangizi nga ono avudde mu kibiina ky’amawanga amagatte ekirwanyisa akawuka ka mukenenya ki UNAIDS akikaatiriza nga akawuka ka mukekenya kati bwe kagenze kakenderera ddala mu Buganda ne Uganda era bw’atyo nasaba abantu ba Kabaka okwongera okukalwanyisa. Asiimye Obwakabaka olw’okukwata omumuli mu kugoba obulwadde buno ng’ategeeza nti ebibala birabwako.
Dr. Ruth Ssenyonyi okuva mu Uganda AIDS Comission mu bubaka bwe, yeyanzizza nnyo Kabaka olw’amaanyi gaatadde mu kulwanyisa mukenenya era ategeezezza nti okuva Obwakabaka lwe bwayingira obutereevu mu kaweefube w’okugoba mukenenya mu Uganda, tewali kubuusabuusa ebibala birabwako kubanga ebibalo byonna biraga nti okusenvula kwa maanyi, abantu obulwadde babutegedde bongedde okwejjanjaba, okwekebeza n’okwekuuma.
Ye Ssenkulu wa Majestic Brands, ekitongole ky’Obwakabaka ekikwanaganya Bannamikago, Omuk. Remmie Kisakye yebazizza abavujjirizi ne Bannamikago mu nteekateeka z’emisinde gy’amazaalibwa ng’agamba nti bingi ebituukiddwako okuviira ddala emisinde gino nga gitandika ne wegiri kati emyaka 12. Akunze abantu ba Beene okwongera okugijjumbira kubanga givudeemu ebibala ebirabwako era abantu ba Beene bangi ddala abatuusiddwako obuweereza obuluubirirwa mu kugitegeka.
Ssaabasajja Kabaka okuva mu 2020 emisinde gy’amazaalibwa ge gitambulizibwe ku kulwanyisa mukenenya era kati emyaka 5 be ddu, ng’omulwamwa gunnyikizibwa; “Abasajja tubeere basaale mu kulwanyisa mukenenya tutaase omwana omuwala”.