
Owek. Katikkiro nga ali ne Muky. Louise Haxthausen
Muky. Louise Haxthausen ayaniriziddwa Katikkiro Owek. Peter Mayiga bano ababuulidde ku buwangwa bwa Buganda n'ebyafaayo by'Obwakabaka ebyenjawulo era ababuulidde ne ku mulimu gw'okuzzaawo amasiro engeri gye gukoleddwamu n'ebiyitiddwamu okutuuka kati nga ganaatera okumalirizibwa.
Yebazizza aba UNESCO olw'okuwagira omulimu guno wamu n'amawanga amalala agakwatiddeko Obwakabaka.
"Tuli basanyufu nti n'abantu ab'ebweru obuwangwa bwaffe babulaba nti kikulu era tukakasa nga bwetumaliriza amasiro g'e Kasubi, obuwangwa bujja kwongera okutegeerwa naddala bwetufuna abagenyi ab'ekikula kino" - Owek. Mayiga
Louise atenderezza nnyo obuwangwa n'ebyafaayo bya Buganda era ku lwa UNESCO yebazizza nnyo engeri Obwakabaka gye butaddemu amaanyi n'obudde okutumbula obuwangwa.
Bano oluvannyuma batuusiddwako mu Masiro e Kasubi okulaba omulimu bwegutambula, n'okubaako bye bamanya ku byafaayo by'ekifo kino.
Bano oluvannyuma batuusiddwako mu Masiro e Kasubi okulaba engeri omulimu gy’egutambula n’okwongera okumanya ku byafaayo by’ekifo kino.