
Eno ye plaani y’ekizimbe ekipya
Mu kutumbula enkulaakulana mu Lubiri High School esangibwa e Buloba
Obwakabaka butemye evvuunike ery’okuzimba ekisulo ky’abayizi abawala ku Lubiri High School ettabi ery’e Buloba.
Ekisulo kino kya myaliiro esatu era kyakumalawo ensimbi ezisoba mu buwumbi bibiri n’ekitundu (2.5bn). Zino zaakuwebwayo Centenary Bank mu nkola ya kwewola.
Omulimu guno gutongozeddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita w’obuyiiya, tekinologiya n’enzirukanya y’emirimu, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo.
Ono ategeezezza nti omusingi essomero lino gwe lyatandikirako guliyambye okutambula nga ligenda mu maaso, naddala n’obukulembeze bwalyo mu myaka gino e 12.

Owek. Dr Twaha Kaawaase Kigongo nga atongoza plaani
Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, yeebazizza Centenary Bank olw’obuwagizi mu by’ensimbi, ng’agamba nti bbanka eno esobozesezza Obwakabaka okwewola ensimbi okuzimba ebizimbe eby’enjawulo ku ssomero lino. Era yebazizza n’abazadde abawaddeyo abaana baabwe okubangulwa.
Asabye akakiiko akazimbi akateereddwawo okulondoola omulimu gw’okuzimba, okulaba nga abazimbi bakola omulimu oguggumivu oguweesa Obwakabaka ekitiibwa.

Abamu ku bayizi bali mu kifaananyi ekya wamu ne Owek. Dr Twaha Kaawaase Kigongo ne Owek. Clotilda Nakate Kikomeko oluvannyuma lw'okutongoza plaani empya y’ebisulo
Ye Minisita w’enkulaakulana y’Abantu era avunaanyizibwa ku byenjigiriza, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, ayagala abayizi banywerere ku ssomero okuviira ddala ku S.1 okutuuka ku S.6, baleme kugenda walala nga bamazeeko S.4.
Kino akitadde ku nkwata ennungi y’abaana n’abazadde erina okukolebwa abasomesa n’abakulu be ssomero lino. Abasabye okukiteekako essira.
Amos Gitta, Ssentebe wa Bboodi, agambye nti ekizimbe kino kyakuzimbibwa mu myaka etaano. Agamba nti olw’omuwendo gw’abayizi okweyongera, wabaddewo obwetaavu obw’okwongera ekizimbe ekirala ekinaasulwamu abaana 900.