donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Obwakabaka butenderezza emirimu egyakoleddwa Omugenzi Joseph Kabeenge, Taata w’Omukungu Fabian Kasi owa centenary bank

Obwakabaka butenderezza emirimu egyakoleddwa Omugenzi Joseph Kabeenge, Taata w’Omukungu Fabian Kasi owa centenary bank
Omubiri gw’omugenzi nga gusabirwa mu Klezia e Lubaga

Omubiri gw’omugenzi nga gusabirwa mu Klezia e Lubaga

Obwakabaka bwa Buganda butenderezza n’okussaamu ekitiibwa emirimu n’obuweereza obwakolebwa omugenzi Mw. Joseph Kabeenge, Taata w’Omuk. Fabian Kasi – Ssenkulu wa Centenary Bank era Ssentebe wa Bboodi ya BBS Terefayina.

Abakulu b'Obwakabaka baabaddewo mu missa eyategekeddwa ku Lutikko e Lubaga okumusaabira.

Omumyuka wa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, ng’asoma obubaka bwa Katikkiro

Omumyuka wa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, ng’asoma obubaka bwa Katikkiro

Mu mmisa eno, obubaka okuva ewa Katikkiro Charles Peter Mayiga bwatuusiddwa Omumyuka we owookubiri era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa.

Obubaka obwo bwasiimye nnyo omugenzi olw’okukuza abaana be n’empisa z’obuwangwa. Katikkiro yagamba nti omugenzi yassa essira ku nteekateeka ey’abaana, era ebibala by’ensomesa ye byeyolekera bulungi mu buweereza bwa mutabani we, Omuk. Fabian Kasi.

“Omugenzi Mw. Kabeenge yakuza abaana be mu mpisa n’obuwangwa. Kino kikakasiddwa mu ngeri mutabani we, Mwami Fabian Kasi, gy’afunamu obwesimbu n’okwagala eggwanga.” — Obubaka bwa Katikkiro.

Omuk. Fabian Kasi ng’ayogera ku bulamu bwa kitaawe, kati omugenzi

Omuk. Fabian Kasi ng’ayogera ku bulamu bwa kitaawe, kati omugenzi

Omugenzi ajjukirwa ng’omusajja ow’empisa eyawadde obulamu bwe okuza amaka ge n’okukuuma empisa ez’ekitundu.

Omwami Fabian Kasi mu kwogera kwe, yasiimye kitaawe olw’obuvunaanyizibwa, okubuulirira, n’okwewaayo. Yagambye nti kitaawe yamuyigiriza okwagala eggwanga, okusiima emirimu, n’okuba omuntu omwesimbu mu nsi.

Mmisa eno yakulembeddwamu Ssaabalabirizi wa Kampala, Paul Ssemogerere. Yasiimye abaana b’omugenzi, naddala Omuk. Kasi, olw’okuyimirira ku ludda lwa kitaabwe mu kiseera ky’obulwadde ne bamulabirira mu kitiibwa okutuusa okufa kwe.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK