
Owek. David Mpanga ng’atuusa obubaka bwa Kabaka eri muwala w’omugenzi.
Obwakabaka bwa Buganda butenderezza emirimu gy’eyali Ssaabaminisita wa Kenya Rt. Hon. Raila Amollo Odinga, eyafa gyebuvuddeko ng’ali mu ggwanga lya India.
Obubaka bw’Obwakabaka busomeddwa Owek. David F. K. Mpanga, bw’abadde yeetabye mu kusaba okutegekeddwa okujjukira omugenzi ku All Saints Cathedral, e Nakasero, mu Kampala.
Katikkiro Charles Peter Mayiga, mu bubaka bwe, yategeezezza nti Ssaabasajja Kabaka n’abantu ba Buganda bajjukira nnyo enkolagana eyaliwo wakati w’omugenzi, ab’omu nnyumba ye awamu n’Obwakabaka, okuva ku mulembe gwa Ssekabaka Edward Muteesa II.
“Emirundi mingi nnyo Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yakyaliranga Raila Odinga — ekiraga enkolagana, okwagalagana n’ebiruubirirwa bya Africa eby’awamu,” bwe yategeezezza Katikkiro.
Katikkiro atenderezza nnyo obuvumu n’obuweereza bwe eri eggwanga, ne mu kaseera akazibu mwe yasibibwa emirundi egy’enjawulo — byonna byaleka omukululo ku nfuga ya demokulasiya mu Kenya.
Katikkiro era yakubagizza ab’ennyumba y’omugenzi, okuli mukyala we Ida Odinga, ab’oluganda n’abannansi b’eggwanga lya Kenya.
Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Rt. Rev. Samuel Steven Kazimba Mugalu, yakuutidde abakkiriza okulabira ku mugenzi Raila Odinga, okubeera abasaale mu kutembeeta emirembe mu ggwanga n’okunyweza obwenkanya mu ssiga eddamuzi.
Okusaba kuno kwetabiddwamu ab’ennyumba y’omugenzi Raila Odinga, abakulembeddwa muwala we Rosemary Adiambo Odinga, Prof. Anyang’ Nyong’o — gavana w’e Kisumu, wamu n’aba minisita okuva mu gavumenti ya wakati, abakulembeze b’ebibiina by’obufuzi n’abalala.