
Owek. Patrick Luwaga Mugumbule nga asoma obubaka okuva mu Bwakabaka
Obwakabaka bwa Buganda busindise obubaka obw’okusaasira eri ab’enju y’omugenzi Eldard Walakira, olw’okuviibwako omwagala waabwe.
Omugenzi Eldard Walakira ye Taata wa Margaret Mayiga, Mukyala wa Katikkiro, Owek. Charles Peter Mayiga.
Ku lw’Obwakabaka, Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase, y’aweerezza obubaka obusomeddwa Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, mu kusaba okwabadde e Buloba mu maka g’omugenzi.

Esanduko omuli omubiri gw’omugenzi
Mu bubaka obwo, Owek. Kaawaase yebazizza Katonda olw’obulamu bw’awadde omugenzi n’ebyo by’amusobozesezza okukola. Asabye abasigaddewo okutwala mu maaso omukululo gw’alese.
Asaasidde nnyo Owek. Charles Peter Mayiga, Omuky. Margaret Mayiga, n’ab’enju bonna. Yabaweerezza essaala nti Katonda ababeereko mu kiseera kino eky’okusoomozebwa, n’omugenzi amuwummuze mirembe.