
Leero giweze emyaka 32 bukyanga Ssaabasajja Kabaka atuuzibwa ku Nnamulondo, ku mukolo ogwali e Buddo – Naggalabi mu mwaka gwa 1993.
Emikolo gy’omwaka guno gibadde ku Muzigiti e Kibuli. Twebaza nnyo Katonda akuumye Ssaabasajja Kabaka wa Buganda okutuka ku matikkira g’emyaka 32 ng’ali ku Nnamulondo ng’alamula Obuganda.