
Owek. Noah Kiyimba nga ayogerako eri abayizi abatikiddwa ku Quantum RTF Training Institute e Namusera
Minisita w’Olukiiko, Kabineeti, Abagenyi n’Ensonga ez’Enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba, yetabye ku mukolo gw’amatikkira g’abayizi ku ttendekero lya Quantum RTF Training Institute e Namusera mu ggombolola y’e Busiro.
Bw’abadde ayogerera ku mukolo guno, Owek. Kiyimba asabye Gavumenti okukendeeza ku miwendo gy’emutimbagano (Internet) era egigatte ku bantu abali mu bitundu by’eggwanga eby’ewala.
Agambye nti kino kijja kuyamba abavubuka okwetaba mu mirimu egikozesa tekinologiya n’okwekulaakulanya mu ngeri ey’enkizo.

Owek. Kiyimba wakati nga atudde n’abakulira ettendekero lino n’abayizi abatikiddwa nga bayimiridde emabega wabwe
Owek. Kiyimba yebazizza omutandisi w’ettendekero lino, Hajj Abu Kawenja, olw’okuleeta enkulaakulana mu kitundu gy’abeera ate n’akulembeza enkozesa ya tekinologiya mu ssomero lye.
Agambye nti omusomesa asobola okutendeka abayizi okuva buli wantu wonna — oba ku ssomero oba ewaka — ng’ayita ku mutimbagano, era kino kye kiggya abantu mu bwavu n’okubasindika mu maaso.
Ayongeddeko nti kikulu nnyo abantu bwe bateeka enkulaakulana mu bifo gye babeera oba gye basibuka.
Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Hon. Matia Lwanga Bwanika, yasinzidde ku mukolo guno n’asaba Gavumenti okwongera okuwagira ensonga z’eby’emikono, nga ejja okuggya emisolo ku matendekero agasomesa eby’emikono.
Agambye nti ekyo kijja kuyamba abaana bangi okufuna obukugu obubasobozesa okwetandikirawo emirimu gyabwe.

Hajj Abu Kawenja, omutandisi w’ettendekero lino n’omukozi ku Leediyo CBS
Hajj Abu Kawenja, omukozi ku Leediyo CBS ate nga ye mutandisi w’ettendekero lino, agamba nti bannayuganda bangi bakyalemereddwa okutegeera enkozesa y’omutimbagano.
Agambye nti bandisigalira emabega kubanga ensi edduka misinde. Wabula abo abategedde obukulu bw’emitimbagano n’engeri gye bagikozesa obulungi, bajja kuwangula mu nsi.