donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Minisita Kawuki asabye Amagye okuva ku Ttaka ly’Obwakabaka e Kyaggwe

Minisita Kawuki asabye Amagye okuva ku Ttaka ly’Obwakabaka e Kyaggwe
📸 Owek. Joseph Kawuki ng’ayogerera e Kawolo mu Kyaggwe

📸 Owek. Joseph Kawuki ng’ayogerera e Kawolo mu Kyaggwe

Minisita w’Obwakabaka bwa Buganda avunaanyizibwa ku nsonga z’ebitundu n’ebweru w’eggwanga, Owek. Joseph Kawuki, amaze olunaku olwokubiri ng’alambula ggombolola ez’enjawulo mu Ssaza Kyaggwe, nga asaba amagye okukomya okubeera ku ttaka ly’Obwakabaka kwe basenze nga tewali kwekenneenya.

Bwabadde ku kitebe kya Ggombolola Kawolo, awategeerekese nti abajaasi balemesa enzirukanya y’emirimu, Owek. Kawuki yalaze ennaku olw’ensonga eyo. Yagambye nti tewali nsonga amagye okugobaaba okwesenza ku ttaka ly’Obwakabaka ne bateeka obukwakkulizo ku baami ba Kabaka okutuukiriza mirimu gyabwe.

“Ebyo byandisobola okugonjoolwa mu nkola ya kuteesa n’okutegeeragana kubanga Obwakabaka tebuggobaganya bantu,” bwe yagambye.

📸 Owek. Kawuki n’abaami b’Obwakabaka mu Ssaza Kyaggwe nga bali wamu n’abakulembeze abalala

📸 Owek. Kawuki n’abaami b’Obwakabaka mu Ssaza Kyaggwe nga bali wamu n’abakulembeze abalala

Yasomye e bbaluwa ya Ssaabawolereza wa Uganda, Fred Ruhindi, eyawandiikibwa nga May 29, 2015, eyalagira ebitongole bya Gavumenti okuva ku bintu by’Obwakabaka oba okukolagana n’Obwakabaka okusasula obusuulu.

Yagambye nti kino akikoze kulaga nti waliwo okutegeeragana era tewali nsonga lwaki amagye n’ebitongole bya Gavumenti tebayinza kuteekawo enkola ey’okuwuliziganya n’Obwakabaka okulaba nga bakolera mu mirembe.

Abakulembeze ba Kyaggwe bakubiriziddwa okubeera ekyokulabirako

Omwami w’essaza Kyaggwe, Owek. Vincent Matovu, yasabye abakulembeze okubeera eky’okulabirako mu nteekateeka z’Obwakabaka, n’okulabirira abaana n’okusomesa.

📸 Abakulembeze b’Obwakabaka bwa Buganda mu lukiiko lwe baatudde nga bateesa ku nkyukakyuka ezigendereddwamu okulongosa enkola y’obuweereza mu Kyaggwe

📸 Abakulembeze b’Obwakabaka bwa Buganda mu lukiiko lwe baatudde nga bateesa ku nkyukakyuka ezigendereddwamu okulongosa enkola y’obuweereza mu Kyaggwe

Yalagidde nti waliwo abakulembeze abatatuukiriza mirimu gyabwe ate ne basuulayo empisa z’Obwakabaka, era n’abasaba okudda mu bukulembeze obw’obuvunaanyizibwa..

“Abakulembeze abamu bakozesa ebitiibwa nga tetubiraba ku mirimu egy’obuvunaanyizibwa. Twetaaga abakulembeze abeesimbu n’abetengeredde.”

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK