donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Minisita Kawuki afundikidde okulambula e Ssaza Ssingo

Minisita Kawuki afundikidde okulambula e Ssaza Ssingo
Minisita w’Obwakabaka Owek Joseph Kawuki ng’ayogerako n’Abaami ba Kabaka ku mbuga y’Essaza e Mityana

Minisita w’Obwakabaka Owek Joseph Kawuki ng’ayogerako n’Abaami ba Kabaka ku mbuga y’Essaza e Mityana

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Okulambula kwa Kabaka n'Ensonga za Buganda Ebweru, Owek. Joseph Kawuki, akomekkerezza olutabaalo lw’okusisinkana Abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna mu Ssaza Ssingo olukulungudde ennaku ssatu n’ambirira.

Owek. Joseph Kawuki ng’ali wamu ne Ow’Essaza Ssingo, Mukwenda Deo Kagimu, n’abamyuka be, n’abakiise ku lukiiko lw’Essaza Ssingo, baatandikidde olutabaalo luno ku mbuga y’Essaza e Mityana mu Ggombolola Mumyuka Busimbi. Wano baasissinkanye Abaami b’e Ggombolola eziva mu disitulikiti ye Mityana ne Kassanda okuli: Mumyuka Busimbi, Ssaabaddu Kassanda, Ssaabagabo Ssekanyonyi, Musaale Bulera, Mutuba 5 Kiganda, Mutuba 7 Myanzi ne Mutuba 1 Bukuya.

Olunaku olw’okubiri, Minisita Kawuki yalumalirako e Ntwetwe mu Disitulikiti ye Kyankwanzi, gye yasisinkana Abaami b’e Ggombolola okuli: Mutuba IV Ntwetwe, Mutuba 9 Mulagi, Wattuba, Mutuba 15 Kyankwanzi, Mutuba 14 Nsambya, Butemba ne Gayaza.

Kaweefube ono amufundikidde Kiboga ku mbuga y’e Ggombolola Ssaabawaali Kapeke, wano w’asisinkanye Abaami abatwala e Ggombolola okuli: Ssaabawaali Kapeke, Mutuba XI Muwanga, Mutuba VI Lwamata, Mutuba XIII Kibiga, Mutuba VIII Kikandwa, Mutuba XVI Ddwaniro ne Mutuba III Bukomero.

Obubaka bwa Minisita mu nsisinkano zino zonna bwetambulidde ku kuzuukusa Abaami ba Kabaka bamanye obuvunaanyizibwa obwabaweebwa n’engeri y’okubutambuzaamu. Muno mulimu okukumaakuma abantu ba Kabaka awatali kusosola, okulaba ng’enteekateeka z’Obwakabaka zigguka mu bantu era baziganyulwamu, okutuuza enkiiko, enneeyisa y’Omwami wa Kabaka, empuliziganya ye n’abakulembeze mu Gavumenti ya Wakati, n’obujjumbize.

Owek. Joseph Kawuki awamu n’abamu ku bakulembeze b’Essaza Ssingo mu nsisinkano e Kiboga

Owek. Joseph Kawuki awamu n’abamu ku bakulembeze b’Essaza Ssingo mu nsisinkano e Kiboga

Owek. Joseph Kawuki era asobodde okusisinkana obukulembeze bwa Disitulikiti ye Kiboga okubeebaza enkolagana ennungi n’Obwakabaka, atongozza oluzzi lwa nayikondo ku kyalo Kikooba e Bukomero, n’obuvunaanyizibwa obulala obugwa mu kkowe eryo.

Ebizuuliddwa:

Abaami abamu tebalina bukiiko bwe baddukanya nabwo mirimu — bemalirira bokka. Ate abalala abaalondebwa okukulira ebitongole eby’enjawulo tebafaayo, ekireeseewo okuzingamya empeereza y’emirimu mu bitundu ebimu.

Abaami abalala batwalirizibwa nnyo eby’obufuzi ne beerabira nti balina okugatta abantu bonna okusinziira ku byo bye bakkiririzaamu.

Okutwaliza awamu, Abaami ba Kabaka bafubye okukubiriza abantu ba Kabaka okuwayo oluwalo n’okukiika embuga, okulima emmwaanyi, okujjumbira ensiisira z’ebyobulamu, emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka, okusaabulula obulimba obuyitira ku mitimbagano, era bafubye okubasigamu omwoyo gwa Buganda ogutafa.

Enteekateeka y’okusisinkana Abaami ba Kabaka etalaaga amasaza gonna aga Buganda.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK