donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Katikkiro Mayiga atuuse mu Amerika okwetaba mu BBNAC 2025

Katikkiro Mayiga atuuse mu Amerika okwetaba mu BBNAC 2025
Katikkiro ng’ayanirizibwa ku kisaawe ky’ennyonyi e Boston, Amerika

Katikkiro ng’ayanirizibwa ku kisaawe ky’ennyonyi e Boston, Amerika

Boston, Amerika — Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, atuuse mu Amerika okwetaba mu lukuŋŋaana lwa Buganda Bumu North American Convention (BBNAC) 2025, olugenda okubeera ku Omni Hotel e Boston okuva nga 23 okutuuka nga 26 Muzigo.

Katikkiro agamba nti ekigendererwa ky’okulambula kwe, kwe kusisinkana abantu ba Kabaka ababeera mu mawanga ag’ebweru, n’okubatuusaako obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.

“Abantu ba Kabaka bangi abali ebweru wa Buganda, abamu bali mu America, abalala Bulaaya, Buwarabbu, n’Ensi endala, ekigendererwa ekikulu eky’okusisinkana abantu baffe abali ebweru, kwe kubamanyisa ebifa eka n’okubirondoola kubanga omuntu yenna bw’aba tali mu kifo, ayinza okukaluubirirwa okugoberera ensonga eziri mu kifo ekyo” Katikkiro Mayiga.

Olukuŋŋaana lwa BBNAC lwatandika mu 2015, nga lulambika ku nteekateeka y’okukuŋŋaanya abantu ba Kabaka ababeera mu Amerika n’amawanga agaliriranye, okubasiima, okubategeeza ku bifa mu Bwakabaka, era n’okubawa omukisa okwogera ku mbeera y’obulamu gye babeera.

Olw’omwaka guno, olukuŋŋaana lugitambulira ku mulamwa “Okwaŋŋanga okusoomoozebwa kw’endwadde z’emitwe ne mukenenya,” era lwakubeerawo okuva nga 23 okutuuka nga 26 Muzigo.

Olukuŋŋaana luno lubeerawo buli luvannyuma lwa myaka ebiri mu bibuga eby’enjawulo. Olwasembayo lwali mu kibuga Seattle. Ate era, emyaka egiyise, lutambuziddwa ne ku ssemazinga ez’enjawulo — omuli Bulaaya, South Africa, n’amawanga agawerako ku lukalu lw’Abawarabu.

Ebisingawo ku lukuŋŋaana n’olugendo lwa Katikkiro

  • Ekigendererwa: Okuŋŋaanya abantu ba Kabaka abali ebweru wa Buganda, okubasisinkana, n’okubatuusaako obubaka bwa Ssaabasajja.
  •  Katikkiro ayogerako eri bannamawulire ku ntandikwa y’olugendo lwe.
  • Abamuwerekedde kuliko Baminisita, Abaami b’Amasaza, n’abakungu okuva mu bitundu eby’enjawulo.
  • Ebyafaayo: Olukuŋŋaana lyatandika mu 2015, era lubaawo buli myaka ebiri.
  • Omulamwa: “Okwaŋŋanga okusoomoozebwa kw’endwadde z’emitwe ne mukenenya.”
  • Ennono n’obuwangwa: Katikkiro agamba nti okukyusa ku nsi y’ennono kibayamba okukwatagana ne Buganda n’okukuuma obuwangwa.
  • Minisita Joseph Kawuki asooka okukyala mu Boston mu nteekateeka z’olukiiko luno.
Katikkiro yayaniriziddwa Abaami ba Kabaka okuva mu masaza ag’enjawulo n’abakungu abatuuse emabegako e Boston

Katikkiro yayaniriziddwa Abaami ba Kabaka okuva mu masaza ag’enjawulo n’abakungu abatuuse emabegako e Boston

Obubaka bwa Katikkiro n’obukulu bw’olukuŋŋaana

Ayogedde nti okulambula kuno kutambula mu mugendo gwa Nnamutayiika ogugoberera mirimu gy’Obwakabaka, ogw’okukuuma n’okunyweza obuwangwa bwa Buganda.

Agamba nti ne bwe wabaawo omuganda abeera mu Amerika, azibuwalirwa okufuna obutereevu ku bifa mu Bwakabaka, ky’ava agamba nti okuvaku okukwatagana nabo kyeyongera okuyamba.

Katikkiro Mayiga yalabise nga yetisse obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka eri abantu be abali ebweru wa Buganda. Wamu nabo, atambula n’Abaami ba Kabaka omuli Baminisita n’Abaami b’Amasaza ku mitendera egy’enjawulo.

Agamba nti abantu abali ebweru wa Buganda basaanidde okujjukizibwanga ku buwangwa bwabwe — nga Ebika byabwe, Olulimi Oluganda n’amakulu g’ensibuko yaabwe — olwo nabo babisomese abaana be bazaalira oba abakulira ebweru.

Ategeezezza nti kino kibayamba okunyweza amaka n’obuntubulamu bwabwe ne balema kwesiba ku nnimi n’ennono ez’enjawulo zokka.

Wabula era, abategeka lukuŋŋaana luno kuliko Abaami ba Kabaka ababeera mu masaza ga Beene ag’enjawulo.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK