donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Katikkiro awadde abayizi ba Gombe SSS ensonga ezinaabatuusa ku buwanguzi

Katikkiro awadde abayizi ba Gombe SSS ensonga ezinaabatuusa ku buwanguzi
Oweek Katikkiro nga ayogerako eri abayizi

Oweek Katikkiro nga ayogerako eri abayizi

Kamalabyonna agamba nti obuwanguzi kye kintu buli muntu ky’eyetanira, naye okukituukako kyetaaga okukuuma obulamu bulungi nga tebakozesa biragalalagala, okukuuma obuyonjo, engeri omuntu gy'akuzibwamu, gy'abangulwamu mu by’ennono, ebyenjigiriza n'eddiini.

Minisita mu Buganda ow'enkulaakulana y'Abantu era avunaanyizibwa ku byenjigiriza, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, asabye abayizi obutatuulira bitone byabwe, bafube okubikozesa babiganyulwemu.

Era abakubirizza, nga bayita mu bibiina byabwe — okugeza Nkobazambogo, Akaliba Akendo — okubyeyambisa okudduukirira bannaabwe abatalina busobozi kugenda mu ssomero.

Owek. Katikkiro mu kifaananyi ekya wamu n’abayizi wamu n’abakulu b’ essomero

Owek. Katikkiro mu kifaananyi ekya wamu n’abayizi wamu n’abakulu b’ essomero

Hajji Abdul Zimbe, omukulu w’essomero lino, ayanjulidde Katikkiro obuwanguzi bwe batuuseeko mu kiseera kino, omuli okusitula omutindo gw’ebyenjigiriza — nga muno basobodde okutwala abayizi abasoma obwa ba ddocta ku matendekero aga waggulu, bawangudde empaka z’eby’emizannyo ezitali zimu n’ebirala.

Wabula era basobodde okulabirira obulungi omuto Ssaabasajja Kabaka gwe yasimba mu 2014 bwe yali ajaguza amazaalibwa ge.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK