donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Katikkiro atongoza Omwaka gwa Mmwanyi Terimba 2025–2026

Katikkiro atongoza Omwaka gwa Mmwanyi Terimba 2025–2026
Owek. Katikkiro (wakati) ng’ali wamu n’abalimi b’emmwanyi mu Ssaza Ssingo

Owek. Katikkiro (wakati) ng’ali wamu n’abalimi b’emmwanyi mu Ssaza Ssingo

Mu Ssaza Ssingo, Owek. Katikkiro Kamalabyonna gy’asinzidde okutongoza Omwaka gwa Mmwanyi Terimba 2025–2026.

Ategeezezza nti Obwakabaka bwa Buganda bwagala abantu babeere mu mbeera ennungi ddala – okugeza nga basula bulungi, abaana basoma, n’amaka galabika bulungi.

Yagambye nti bino bye bubonero obulaga nti Buganda edda ku ntikko, era singa abantu balima emmwanyi balina obusobozi okutuuka ku birungi ebyo. Yagasseeko era n’akikkaatirizza nti Buganda teyinza kudda ku ntikko ng’abantu tebalina ssente.

Ku kyalo Nabusolo mu Ggombolola Musaale Bulera, mu maka ga Mw. Ndibwami Vincent, Katikkiro yalambudde abalimi okuli Edward Kalema ne Juliet Nnaabateregga, eyali nkuba kyeyo eyaweerezanga ssente mu bakadde be okugula ettaka, kw’asobodde okulimira emmwanyi. Kati alima sizoni bbiri nnambirira era teyevuma kyeyo.

Minisita w’Obulimi, Obulunzi, Obuvubi n’Obwegassi, Owek. Hajji Amisi Kakomo, agambye nti okuva kaweefube wa Mmwanyi Terimba lwe yatandika kati emyaka mwenda egiyise, emmwanyi zeyongedde ku bitundu 40%. N’akubiriza abantu obutaddiriza.

 Owek. Katikkiro ng’alambula enimiro z’emmwanyi mu Ssaza Ssingo

Owek. Katikkiro ng’alambula enimiro z’emmwanyi mu Ssaza Ssingo

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’Ensonga za Buganda Ebweru, Owek. Joseph Kawuki, yasabye banna Ssingo bafune obudde bebuuze ku abo abaganyuddwa mu Mmwanyi Terimba, nabo babeeko kye bayiga, era bassemu nkola. Yabakubirizza okubunyisa ebifa embuga ebyo ebivudde mu makubo amatuufu.

Owek. Israel Kazibwe Kitooke, Minisita w’Amawulire, Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, yakubirizza abalimi okufukirira ebirime basobole okulwanyisa ekyeya, wabula nga tebeerabidde kunyweza obumu olw’amaanyi gebulina.

Minisita Kazibwe yagambye nti obwegassi n’obumu bulina amaanyi mangi, era kikulu abalimi bafukirire ebirime byabwe balwanyise ekyeya.

Omwami w’Essaza Ssingo, Owek. Deogratious Kagimu, yalopedde Katikkiro nga banna Ssingo bwebakoze ekisoboka okwerwanako, naye balina ekizibu kya babbi abanoga emmwanyi embissi.

Enteekateeka ya Mmwanyi Terimba yatongozebwa mu mwaka gwa 2016, era nga kati lye limu ku makubo agavaamu ensimbi eziyimirizaawo bannayuganda.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK