donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Katikkiro assanyukidde nnyo ab'enju ya Ssenkoole Abakiise Embuga

Katikkiro assanyukidde nnyo ab'enju ya Ssenkoole Abakiise Embuga
Owek. Katikkiro nga ali n’ab’enju ya Ssenkoole mu kifananyi ekyawamu

Owek. Katikkiro nga ali n’ab’enju ya Ssenkoole mu kifananyi ekyawamu

Katikkiro Charles Peter Mayiga yassanyukidde ku benju ya Ssenkoole.

"Ekitiibwa kya Buganda kyetuyimba kisibuka mu Bika, era Buganda ey’enkya tesobola kusaanawo kubanga abantu bangi bamanyi obukulu bw’Ebika byabwe," Katikkiro yategeezezza.

Katikkiro yassanyukidde nnyo ab’enju ya Ssenkoole Abakiise Embuga ne bawaayo oluwalo, amakula, amantambutambu, ate ne baleeta n’abavubuka okusobola okutegeera enteekateeka z’Obwakabaka.

Bano bakulembeddwamu Omutaka Ssenkoole Edward Mukiibi Kigongo, Omusiime Meseach Ssemakula, n’abaataka abalala era abazzukulu mu nju eno.

"Ffe Abaganda okulabirira Obwakabaka ge masanga gaffe ge twetikka okukuuma ekitiibwa kya Nnamulondo," Katikkiro Mayiga asinzidde, n’akubiriza abakulembeze mu bika okuteeka ebikwata ku bika ku mitimbagano, abantu bonna nga basinziira gye bali basobole okutegeera obuvo bwabwe n’ebibakwatako.

Omutaka Ssenkoole V, Edward Mukiibi Kigongo, asinzidde mu nsisinkano ebadde ku Butikkiro e Mmengo n’akubiriza abantu ba Buganda okukuuma Olulimi oluganda n’okuluyigiriza abaana abato okusobola okulukuuma obutasaanawo.

Ssenkoole ky’ekimu ku bitiibwa ebiweebwa Abambowa ba Kabaka, era bano bakola emirimu egy’enkizo egy’enjawulo mu Bwakabaka. Bano babeera bazzukulu ba Ndugwa era beddira Lugave.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK