donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Katikkiro asabye Bannaddiini okusoosowaza enkulakulana mu Bakristu

Katikkiro asabye Bannaddiini okusoosowaza enkulakulana mu Bakristu
Owek. Katikkiro nga awa obubaka bwe mu Lutikko e Kitovu

Owek. Katikkiro nga awa obubaka bwe mu Lutikko e Kitovu

Owek. Charles Peter Mayiga asabye Bannaddiini okusoosowaza enkulakulana mu Bakristu.

Owek. Mayiga okwogera bino, abadde yetabye mu Mmisa y’okuggulawo Ttabamiruka wa Synod ow’omukaaga, ategekeddwa mu Lutikko e Kitovu e Buddu wansi w’omulamwa omugamba nti:

“Okubeera Eklezia Annyikidde Evanjiri era Agirangirira, Atambulira Awamu era Eyeeyimirizawo nga Tusimbye mu Katabi.”

Katikkiro agambye nti Eklezia erina okuteeka essira ku nkulakulana ku mutendera gw’essaza n’omukristu owa bulijjo, olwo emirimu gy’Eklezia egikolebwa gitambule bulungi.

“Nsaba Eklezia okuteeka essira ku nsonga y’enkulakulana ku mutendera gw’essaza n’Omukristu owa bulijjo, olwo n’emirimu egikolebwa Eklezia gitambule. Nkubiriza bannaddiini okusoosowaza enkulaakulana y’omukristu wakati mu kulyowa emyoyo,” bwe yagambye Katikkiro Mayiga.

Yebazizza Eklezia olw’okuteekawo amasomero agayambye nnyo mu kutendeka abaana b’eggwanga, wabula n’akinoganya nti ky’etaagisa okunyweza ekkobaane mu kusigaza amasomero g’Eklezia ku mulamwa gw’obuntubulamu.

Obubaka bwa Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Msgr. Charles Kasibante, bwasomedwa mu lutikko, nga bukubiriza abakristu okweyongera okukolera awamu mu kuteekateeka n’okutumbula emirimu gy’Eklezia.

Omusumba w’essaza ly’e Masaka, Serverus Jjumba, ng’akulembeddemu Mmisa eno, yategeezezza nti Ttabamiruka ono agendereddwamu okuteeka Eklezia ku mulamwa omulungi, abantu ne bekennenya ebintu ebyakolebwa mu biseera ebyayise, era okuteekawo enkola empya ezinafuula Eklezia ey’omulembe guno.

Wano oluvannyuma lw’Emmisa mu kifaananyi ekyawamu ne Musumba Jjumba

Wano oluvannyuma lw’Emmisa mu kifaananyi ekyawamu ne Musumba Jjumba

Omusumba Jjumba agambye nti Synod eno egendereddwamu okuvaamu ebibala ebikuza Eklezia okutambula n’okunyikira mu ddiini n’okutambuza evanjiri mu bantu, nga bw’emaliriddwa okwekenneenya buli nsonga ekwatagana n’Eklezia.

Omulabirizi wa West Buganda Diocese, Rt. Rev. Gasta Nsereko, yebazizza abakulembeze b’Eklezia n’okusiima okuyitibwa mu Ttabamiruka guno, ng’agamba nti kye kabonero akalaga obumu n’enkolagana wakati w’Eklezia n’Ekkanisa.

Yagasseeko nti enteekateeka eno ejja kuyamba mu kweyamba, okwezimba n’okutumbula obuntubulamu bw’abantu bonna wansi w’omulamwa gw’okusigala nga Eklezia etambulira awamu mu mirembe n’obumu.

Synod (Ttabamiruka) lye lukuŋŋaana luyitibwa Eklezia okwekenneenya n’okutunuulira emirimu gyayo, okufuna ebirowoozo ebiggya, n’okuteekateeka eby’okukola mu myaka ejjayo.

Ttabamiruka w’omulundi guno yetabiddwamu abantu ab’enjawulo omuli Omubaka wa Paapa Leo XIV okuva mu ggwanga lya Togo, Rev. Fr. George Kwami Kouwonou, Omulabirizi wa West Buganda Diocese Gasta Nsereko n’omukyala, Sheikh Kiruuta Badru Wasajja atwala ebendobendo ly’e Masaka, n’abalala bangi.

Ttabamiruka guno wakumala ennaku munaana, nga gwatandise ggulo okutuuka nga 9 omwezi guno mu Kitovu Sports Arena, nga gulimu omulamwa:

“Okubeera Eklezia Annyikidde Evanjiri era Agirangirira, Atambulira Awamu era Eyeeyimirizawo nga Tusimbye mu Katabi.”

Ttabamiruka ekikula kino yasemba okutuuzibwa mu mwaka gwa 2003, nga yakulembeddwamu eyali Omusumba w’essaza ly’e Masaka, Bishop John Baptist Kaggwa.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK