donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Katikkiro alaze obukulu bw’Omulimu gw’Amawulire

Katikkiro alaze obukulu bw’Omulimu gw’Amawulire
Owek. Katikkiro Charles Peter Mayiga wakati n’owek. Israel Kazibwe Kitooke, nga bali mu kifanannyi ekyawamu, ne bannamawulire abagasakira e Mengo.

Owek. Katikkiro Charles Peter Mayiga wakati n’owek. Israel Kazibwe Kitooke, nga bali mu kifanannyi ekyawamu, ne bannamawulire abagasakira e Mengo.

Bannamawulire okuva ku mikutu gy’amawulire egy’enjawulo basiimiddwa Obwakabaka okuyita mu kabaga kaabwe, akategekerwa Minisitule y’Amawulire buli mwaka. Katikkiro Mayiga asinzidde ku mukolo guno n’ajjukiza bannamawulire abagasakira e Mengo obukulu bw’omulimu gwaabwe era n’abasaba bagutwale nga nsonga nkulu ddala.

“Mulina okutegeera obukulu bw’omulimu gwammwe. Ennaku zino obukulu bw’omulimu bweyongedde kubanga omutimbagano gyajja, kyokka omutimbagano tegulina musunsuzi. Oli akeera bukeezi n’ayogera ebintu byonna alimba bulimbi era mujjukira ne mu biseera by’obuwummuliziganya abantu, buli omu alina eddagala kyokka nga si basawo. Kale abantu balinda amawulire amatuufu okuva ku bannamawulire abeesigika. Mulina okutuukiriza omulimu gwammwe bulungi,” Katikkiro Mayiga bw’annyonyodde.

Newankubadde omulimu gwa bannamawulire gulimu okusoomooza kungi, Katikkiro asiimye bano abakola omulimu gwabwe, n’abasaba okutuukiriza ky’ateekeddwako mu budde nga bawa ekitiibwa omulimu gwabwe, n’okussa naabo abakozesa omutimbagano nga tebasaasanya mawulire ga bulimba.

Katikkiro Mayiga asiimye nnyo obuyiiya bwa bannamawulire abasaka amawulire ag’Obwakabaka, era n’agamba nti:

“Nneebazza nnyo mmwe abasaka amawulire ag’Obwakabaka. Singa tukola ebintu ebingi, ensi n’etabimanya tuba tutengenjjera bwerere. Eky’amazima, tukola ebintu bingi era Omuganda agamba nti atunda ayolesa… Twagala ensonga z’Obwakabaka abantu bazitegere. Bwe musaasanya amawulire g’Embuga kitukola bulungi nnyo.”

Ye Minisita w’Amawulire, Okukunga abantu era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke, asiimye nnyo bannamawulire bonna olw’empeereza yaabwe omwaka guno nga bafubye okuwuliziganya, nga bakozesa obukugu ne batagendera ku bigambo bya basekeeterera Obwakabaka ku mikolo gyonna egibadde embuga.

Omu ku bannamawulire nga Katikkiro amukwasa ekirabo.

Omu ku bannamawulire nga Katikkiro amukwasa ekirabo.

Omukwanaganya w’emirimu mu Minisitule y’Amawulire era akulira Buganda Media Center, Frobisher Mujjuzi, asiimye nnyo bannamawulire abasaka ag’embuga kuba tebakooye buli mulundi gwe bayitidwa ne bajjumbira, era ne bafulumya amawulire g’Obwakabaka okutuuka mu nsi yonna.

Ssentebe w’olukiiko olukulembera bannamawulire abagasaka e Mengo, Annet Nalubwama, alaze nti olukiiko lwe lwagala enkulaakulana ey’omuggundu mu bannamawulire, era SACCO erubirira okulaakulanya bannamawulire bonna nga beeterekerayo ku nsimbi zabo.

Bannamawulire bano baweereddwa ettu lya Ssekukkulu okubeebaza olw’omulimu amatendo gwe bakolera Obwakabaka.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK