donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Hon. Haruna Kyeyune akiise embuga mu Bulange

Hon. Haruna Kyeyune akiise embuga mu Bulange
Oweek. Katikkiro Charles Peter Mayiga nga ayaniriza Minisita.Haruna Kyeyune Kasolo, ne Mukyala we ku Bulange e Mmengo.

Oweek. Katikkiro Charles Peter Mayiga nga ayaniriza Minisita.Haruna Kyeyune Kasolo, ne Mukyala we ku Bulange e Mmengo.

Minisita Omubeezi w’Ebyensimbi n’Obweggassi mu Ggwanika lya Uganda, Hon. Haruna Kyeyune Kasolo, akiise Embuga ku Bulange e Mmengo okusisinkana Oweek. Katikkiro Charles Peter Mayiga.

Katikkiro, bw’abadde ayogerako ne Hon. Kasolo n’abamuwerekeddeko, asabye Bannayuganda okwettanira obukulembeze obw’ekitiibwa, era balondenga abo abawa Kabaka ekitiibwa n’abasiima Ssemasonga Ettaano ez’Obwakabaka.

Hon. Kasolo yategeezezza nti alina ekigendererwa okuvuganya ku kifo ky’Omumyuka wa Ssentebe wa NRM mu Buganda. Katikkiro yasinzidde ku nsonga eno n’asaba abavuganya okunoonya obuwagizi mu mirembe n’okweyisa obulungi, nga tewali kusika omuguwa kw’obufuzi. N’asabye n’abategeka akalulu okubeera ab’enkola ey’obwenkanya.

Katikkiro yebazizza Hon. Kasolo olw’okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo, era n’amukakasa nti Buganda ekolagana n’abantu abategeera okulabikako kwa Ssaabasajja Kabaka mu byobufuzi n’enkulaakulana y’Obwakabaka.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK