
Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’atuuka ku mukolo ogwabadde mu maka g’amatongole mu Butikiro
Katikkiro w’Obuganda, Owek. Charles Peter Mayiga, ajaguza emyaka 12 okuva Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II lwe yamusiima amulamulireko Obuganda.
Mu bubaka bwe eri Kabaka, Katikkiro yeyanzizza Ssaabasajja olw’okumwesiga obuvunaanyizibwa obunene olw'okwesigisa Ddamula emyaka 12 kati, era n’okumuluŋŋamya buli kiseera mu nsonga ezitali zimu.
Yagambye nti obulungi bwa Kabaka okumwegaliza Ddamula bwamuwadde amaanyi okukola n’obuvumu, era n’ayongera yebaza Abataka abakulu Ab'obusolya, Abaami Ab'Amasaza, Bassenkulu b'ebitongole n'Obuganda bwonna olw'okumywagira mu mirimu gyonna egikoleddwa mu myaka 12.
Yagasseeko okwebaza Kabineeti ya Kabaka gy’atambudde nayo mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe, n’abalala nga Abataka abakulu ab’obusolya, Abaami b’Amasaza, b’Abatongole, ne Bannabyabufuzi ab’enjawulo, awamu n’Obuganda obwonna olw’obuwagizi mu mirimu egyakoleddwa mu myaka 12 egiyise.

Owek. Katikkiro ne mukyala we nga batongoza ekitabo kye ekiggya
Katikkiro yebazizza mukyala we, abaana, abooluganda n'emikwano bagambye nti babadde mpagi nkulu okumusobozesa okukola obuweereza eri Kabaka obulungi.
Katikkiro wano era atongozza ekitabo kye ekipya 'KABAKA KU NNAMULONDO' kye yavvunudde okuva mu kye yasooka okuwandiika kye yetuuma 'King on the Throne'. Ategeezezza nti kino kirimu essuula 15 era kirimu n'ebipya bingi ebibaddewo okuva eky'oluzungu lwe kyasooka okufuluma.
Katikkiro akubirizza abantu okuwandiika ebitabo ebikwata ku bulamu bwabwe, bye bakoze ne bye balabye, baleme kuleka balala kubawandiikira. Ono agamba nti kino kijja kuyamba nnyo amagezi okutambuzibwa ebyasa n'ebyasa.
Katikkiro Mayiga asabye Obuganda bwonna, ne mu myaka 13 gy'atandise okutambuza, asabye Obuganda bwonna okutambulira awamu naye, wakati mu kuwaŋŋana amagezi n'okuyambagana okunyweza obumu n'okunyweza Nnamulondo, olwo ne Buganda edde ku ntikko.
Yafunzizza ebyo Katikkiro by’asobodde okukola mu myaka 12 omuli okusitula ekitiibwa kya Buganda, okutumbula enkulaakulana mu Buganda mu byobulimi, ebyobulamu, ebyenjigiriza, ebyemizannyo, ebitone, abavubuka n’ebirala.