donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Buganda Eweerezza Abantu 100 e Kenya Okubangulwa mu Byobulimi

Buganda Eweerezza Abantu 100 e Kenya Okubangulwa mu Byobulimi
Wano nga basimbulwa okuva e Bulange, Mmengo.

Wano nga basimbulwa okuva e Bulange, Mmengo.

Ekibinja ky’abantu 100 ab’emitendera egy’enjawulo mu Bwakabaka bwa Buganda, kisimbuddwa Minisita Hajji Amisi Kakomo okwolekera Eggwanga lya Kenya nga muno mulimu abalimi n’abalunzi.

Mu bagenze kuliko; Abataka abakulu Ab’Obusolya, abakulembeze mu Bika, ab’Amasaza, n’abantu abalala. Bano bagenze okwongera okubangulwa ku nnima empya nga omulimi akozesa ettaka erirabibwa nga effunda n’alimirako ebirime ebisuka mu kimu kyokka ng’asobola n’okulundirako basobole okuvuganya ku katale ke nsi yonna nga olutabaalo luno lukulembeddwamu Kabaka Foundation. Eno baakumalayo ennaku ttaano nga basomesebwa.

Minisita w’obulimi n’obulunzi mu Buganda Hajji Amisi Kakomo nga y’asimbudde ekibinja ky’abalimi okuva e Bulange, Mmengo asabye abagenze okuteekawo omwoyo ku bigenda okubasomesebwa bwe bakomawo basobole okugabanako n’abalimi abalala be balese eka.

Bano bebagenze e Kenya nga tebannasimbulwa.

Bano bebagenze e Kenya nga tebannasimbulwa.

Minisita Kakomo ajjukiza abalimi nti ekiruubirirwa ky’enteekateeka zino zonna mu Buganda kwe kuzzaayo Buganda mu kifo kyayo mu by’obulimi kye yalimu nga yesinga okufulumya emmwanyi n’emmere eriibwa.

Ye Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Namwama Augustine Kizito Mutumba naye eyatabye mu nteekateeka eno, agamba nti Abataka okusitukiramu kabonero akagenderera okwagazisa abazzukulu naddala abavubuka obulimi okubutwala ng’ensibuko y’obugagga bwe bayaayanira.

Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika ng’ono mukiise ku bboodi ya Kabaka Foundation, yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okutemera nga abantu be amakubo g’enkulaakulana buli lukya era ono asabye abalimi bano okuyiga obulungi byonna ebinaabasomesebwa bakomewo babiteeke mu nkola.

Ssenkulu wa Kabaka Foundation Edward Kaggwa Ndagala akubirizza abalimi abatwaliddwa e Kenya okulowooza ku katale k’emmere akatwalibwa e ggwanga lya Kenya, “Kenya yajja kuno n’ewamba akatale kaffe konna kuba bw’oyimirira mu butale bwa Uganda ku ssaawa kkumi ez’ekiro emmotoka z’e Kenya ziba zitikula bintu kyokka ffe wano tubasinza ettaka eddungi erisobola okufulumya ebirime okubasinga” Omuk. Ndagala bw’anyonyodde.

Ekitongole ki Kabaka Foundation mu nteekateeka eno ey’okusomesa abalimi ennima ey’omulembe mu Ggwanga lya Kenya kutambulira wamu n’ekitongole ki Heifa International ne Bannamukago abalala.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK