
Abaami ba Kabaka nga bali mu kifananyi ekyawamu
Hajj Hassan Kasujja Kagga, Omwami akuuma entebe y’obwa Kayima, n’Omumyuka we Dr. Mujuzi Pizaroh, bategese olusirika lw’abakulembeze b’Essaza Mawokota oluyindidde ku Pope Paul Hotel e Ndeeba.
Kaggo Owek. Hajj Ahmed Magandaazi Matovu y’akiikiridde Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Joseph Kawuki. Mu bubaka bw’amutisse, asabye Abaami n’abaweereza obutava ku Kabaka, era n’abajjukiza nti obuweereza bwe baliko nnyini bwo ye Ssaabasajja Kabaka. Bwatyo abasabye okubeera abakozi ab’amazima, n’okukozesa obulungi obuvunanyizibwa obwabakwasibwa, okugabana obuyinza okuva waggulu ku Kayima okutuuka wansi ku butongole.
Minisita Kawuki era abakuutidde Abaami ba Kabaka okugoberera ennyo ennambika y’Obwakabaka ne bewale okukola ensobi. Abasabye okussa ennyo essira ku butongole wansi, ng’akikaatiriza nti guno gwe musingi gw’obuweereza mu Buganda.
Ku lulwe, Kaggo Magandaazi akubirizza Abaami okussa buli kye bakola mu buwandiike okusobola okuyambako abaliddawo okutuusa obuweereza obulungi nga beesigama ku byafaayo. Abasabye okuwabuligana mu buweereza n’okubeera abakozi ennyo, basobole okusitula essaza lyabwe.
Hajj Hassan Kasujja Kagga yebazizza nnyo Minisita olw’okukkiriza okubawa emisomo nga gino, era n’amusaba okugenda mu maaso nagyo.
Olusirika luno lwetabiddwamu Abaami ba Kabaka ab’eggombolola n’abamyuka baabwe, olukiiko lw’essaza olukozi lw’emirimu, Omutesiteesi w’essaza, wamu n’abalezi okuva mu Masaza agenjawulo nga bakulembeddwamu Mukyala Nakanjako Alexa.