
Bulange e Mengo – Ekifo ekikulu eky’obwakabaka bwa Buganda awatuulirwa Lukiiko
Lukiiko lwa Buganda olutudde ku Mmande, nga 5 May 2025 e Bulange, Lubiri lwa Mmengo, lwayisizza ebiteeso omusanvu ebikwata ku nsonga ez’enjawulo ez’Obwakabaka.
Ebimu ku bino byabadde okujaguza olunaku lwa Ssaabasajja Kabaka ng’atuuse ku myaka 70, wamu n'okusiima emirimu gy’abantu ab'enjawulo. Ebiteeso bino byayisiddwa nga bikulembeddwamu Minisitule y'Olukiiko n'ebitongole ebirina enkolagana n’Obwakabaka.
