
Owek. Ssaalongo Geoffrey Kibuuka ne Abaami b’Emiruka abatuuziddwa mu Bbendobendo lya South ne West England ku mukolo ogw’ebyafaayo
Omubaka wa Kabaka mu UK ne Ireland yatuuzizza Abaami b'Emiruka mu Bbendobendo lya South ne West England
Abaami b’Emiruka mu Bbendobendo lya South ne West England, mu Ssaza lya UK ne Ireland, balayiziddwa era ne batuuzibwa mu buweereza buno.
Omukolo gw’okutuuza gwakoleddwa Omwami wa Kabaka atwala e Ssaza lino, Owek. Ssaalongo Geoffrey Kibuuka, era gwa yindidde mu kitundu kye Feltham mu West London, ng’abaami musanvu aba Kabaka be batuuziddwa.
Mu bubaka bwe, Owek. Geoffrey Kibuuka yakubirizza abaweereza b’Obwakabaka okukumaakuma abantu ba Ssaabasajja awatali kusosola, era n’abasaba bafube okuweesa Ssaabasajja ekitiibwa nga boolesa empisa n’enneeyisa ennungi egwanidde omukulembeze.
Omukolo guno ogw’ebyafaayo gwegusookedde ddala okubeerawo mu Ssaza lya Bungereza ne Ireland, era gwaku??aanyizza abantu ba Ssaabasajja abasoba mu 300.

Omuk. Janet Nabatta Mukiibi ng’awa obubaka, bwabadde ayogerera ku mikolo egyategekebwa awamu n’olukiiko lwe oluddukanya Bbendobendo lino
E Bbendobendo lya South ne West England likulemberwa Omumyuka w’Omubaka wa Kabaka mu Ssaza lya UK ne Ireland, Omuk. Janet Nabatta Mukiibi, eyateekateeka omukolo guno awamu n’olukiiko lwe oluddukanya Bbendobendo lino.
Ku mukolo guno, abaana abato n’abavubuka bayolesezza ebitone eby’enjawulo era ne beetaba mu mpaka z’Olulimi Oluganda, mwe baawangudde ebirabo.
Abaami b’Emiruka abatuuziddwa:
- Southwark ne Lambeth – Muky. Esther Kyembe
- Croydon ne Bromley – Mw. Richard Nkalubo
- Kingston ne Richmond – Muky. Josephine Nabaweesi
- Greenwich ne Lewisham – Mw. Polycap Kakande
- Southampton ne Exeter – Mw. Eddie Semwanga Kimbowa
- Surrey ne Sussex – Ssaalongo Mwebya Solomon
- Kent ne Dover – Mw. Aaron Mutumba

Abantu ba Ssaabasajja abasoba mu 300 beegattira ku mukolo guno ne bagabana ekijulo ekyejawulo n’ebyokunywa mu ssanyu n’obumu
Abetabye mu mukolo:
Omulangira Herbert Kateregga, Owek. Kabuuza Mukasa okuva mu Nnabagereka Development Foundation, omuwanika w’essaza Bulemeezi Dr. Kyeyune, Sheikh Kalantane Yiga n’abalala bangi.
Laba ebifananyi eby’omukolo ogw’okutuza Abaami b’Emiruka mu South ne West England