donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Mmisa ya Ssekukkulu e Lubaga: Katikkiro akubirizza Obuganda okwefumiitiriza ku bubaka bwa Kabaka

Mmisa ya Ssekukkulu e Lubaga: Katikkiro akubirizza Obuganda okwefumiitiriza ku bubaka bwa Kabaka
Image 1 25 - 12 - 2025_large.jpg

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, akulamuse abantu ba Buganda okutuuka ku Ssekukkulu, n’abasaba okwefumiitiriza ku bubaka bwa Ssaabasajja Kabaka obw’Amazaalibwa ga Yesu Kristo n’Omwaka Omuggya 2026.

Owek. Mayiga abadde ayetabye mu mmisa ya Ssekukkulu mu Lutikko e Lubaga, gye yanokoddeyo ennyingo mukaaga mu bubaka bwa Nnyinimu, n’asaba Obuganda okuzeefumiitirizaako wamu n’endala eziri mu bubaka obwo.

Ennyingo mukaaga ze yanokoddeyo ze zino:

  1. Abakuumaddembe obutatyoboola ddembe lya muntu.
  2. Akakiiko k’ebyokulonda okukola omulimu gwako mu bwesimbu.
  3. Abalonzi okulonda n’obwegendereza naddala ku bantu abayiwa ssente mu kalulu.
  4. Abantu okutereka emmere olw’enkuba etono mu mwaka guno.
  5. Okufukirira ebirime n’okulongoosa ebyobulimi.
  6. Abakuumaddembe okukwata abo abasaddaaka abaana, n’abazadde okukuuma obulungi abaana baabwe.
Image 2 25 - 12 - 2025_medium.jpg

Katikkiro yebazizza Ssaabasumba wa Kampala, Paul Ssemogerere, akulembeddemu mmisa, era n’ayagaliza Obuganda okujaguza obulungi Ssekukkulu. Kyokka n’abajjukiza nti obulamu kikulu nnyo, n’asaba buli muntu okwekuuma okwewala obubenje n’obutabanguko.

Owek. Mayiga era ategeezezza nti omwaka 2025 gubadde gwa bibala ebiwerako mu Bwakabaka bwa Buganda, kyokka n’akinnyonnyola nti ekisinze obukulu kye kumaliriza omulimu gw’okuddaabiriza Amasiro g’e Kasubi. Bwatyo n’asaba Obuganda okwongera okunyweza obumu ne mu mwaka ogujja, olwo kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko aggumire.

Agambye nti:

“Omwaka 2025 gubadde mulungi mu Bwakabaka. Tusobodde okuggulawo amalwaliro, amasomero ga nursery, abantu bajjumbidde okulima emmwanyi, naye ekisinze obukulu kwe kumaliriza Amasiro g’e Kasubi.”

Mu bubaka bwe, Ssaabasumba Paul Ssemogerere asabye abazadde okufaayo ennyo ku baana baabwe, naddala mu ngeri gye bakozesaamu omutimbagano. Agambye nti omutimbagano gutali na musunsuzi, era abaana basobola okulaba ebyesittaza n’okuyiga emize egisobola okwewalika singa tebafuniddwa kulabirirwa.

image-3-25---12---2025.jpg

Ku lwa Gavumenti eya wakati, Minisita wa Buyonjo n’Eby’obulamu mu masomero, JC Muyingo, yebazizza Ssaabasumba olw’obubaka bw’awadde abazadde ku nsonga z’abaana, era n’agattako eddoboozi ng’akubiriza abazadde okuwa abaana obukuumi obw’enjawulo mu kiseera kino eky’oluwummula.

Minisita Muyingo era asabye abantu okukozesa ekiseera kino eky’Amazaalibwa ga Kristo okwefumiitiriza ku by’okukola ebitatabangula ggwanga. Agambye nti eddembe kikulu nnyo eri buli muntu, era tewali asaana kukuma muliro mu bantu, naddala mu kiseera kino eky’akalulu.

Okusaba kwa Ssekukkulu mu Lutikko e Lubaga kwetabiddwamu Omulangira David Kintu Wasajja n’Omuzaana Marion Nankya, atikkiro eyawummula Joseph Mulwanyamuli Ssemwogerere, omuvuganya ku bwa Pulezidenti Robert Kyagulanyi Ssentamu n’Omukyala Barbie Itungo Kyagulanyi, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, Robert Kasibante, wamu n’Abakristo abalala bangi.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK