
MMENGO – KYADDONDO
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono, Oweek. Dr. Anthony Wamala, asisinkanye Bannaalinnya abakuuma Amasiro ga Bassekabaka ba Buganda okwongera okuttanya ku nsonga ez’enjawulo.
Olukiiko luno lubadde ku kitebe ky’ekitongole ky’ebyobulambuzi mu Buganda e Mengo.
Minisita Wamala abasabye okufaayo ku nsonga nnya okuli: obukulembeze obunywedde obusobola okwanganga ebizibu ebiri mu bitundu bye bakulembera; okukunga abazukkulu abava mu ba Ssekabaka b’embuga ezo ze bakuuma okudda awaka benyigire mu nteekateeka z’enkulakulana ku butaka bwabwe; okukola enkiiko z’abayima (trustees) okwetaasa ku bibattaka; wamu n’okusala entotto ku ngeri ettaka gye lisobola okukozesebwa okuleeta ensimbi ezikulakulanya obutaka.
Minisita Wamala abategeezezza ku lutalo lw’aliko mu kulambula ebika byonna mu Buganda, n’agamba nti asanze okusoomozebwa kw’abazzukulu bangi abesuuliddeyo ogwannagamba obutamanya bika byabwe. Abasabye Bannaalinnya okukunga abazzukulu okujjumbira emirimu egikolebwa.
Oweek. Wamala era ategeezezza nti Obwakabaka bwatandise enteekateeka y’okuteeka abayima ku ttaka ly’amasiro gonna okusobola okukendeeza ku bantu abeefunyiridde okutunda ettaka eryo.
Ssentebe w’Olukiiko lwa Bannaalinnya, Nnaalinnya Beatrice Namikka, yebazizza Minisita w’Obuwangwa n’Ennono okutegeka olukiiko luno, n’agamba nti lugenda kubayamba okuvvuunuka ebibanyigiriza n’obumolumulu obuliwo ku mbiri.