
Omumbejja Diana Balizzamuggale nga bw’abadde afanana
Omumbejja Diana Balizzamuggale agenda okuterekebwa ku Mmande nga 22/12/2025 mu Masiro e Kasubi.
Katikkiro wa Buganda alangiridde enteekateeka z’okutereka Omumbejja Diana Balizzamuggale, muwala wa Ssaabasajja Kabaka Edward Muteesa II era mwannyina muto wa Ssaabasajja Kabaka Ronald Mutebi II, eyabuze.
Olukiiko olukola ku nteekateeka zonna lukulemberwa Minisita w’Obuwangwa n’Ennono, Owek. Dr. Anthony Wamala. Ku lukiiko luno kuliko ne Minisita David F.K. Mpanga, Omuwanika w’Enkuluze Omuk. John Kitenda, Katikkiro w’Amasiro g’e Kasubi David Nkalubo, wamu n’Omuwandiisi w’Enkalakkalira mu Woofiisi ya Katikkiro, Omuk. Josephine Nantege Ssemanda.
Olumbe lw’Omumbejja lujja kukumibwa leero nga 21/12/2025 e Kasubi mu Masiro. Enkya ku Mmande wajja kubaawo okusabira omwoyo gw’omubuze mu kkanisa ya Church of Uganda e Kasubi, oluvannyuma Omumbejja aterekebwe ku ssaawa munaana (8:00) mu Masiro e Kasubi.
Gutusinze nnyo, Ayi Ssaabasajja Kabaka, twakuumye bubi.